[1] Abooluganda, twagala mumanye ekisa Katonda kye yakwatirwa ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Makedooniya.
[2] Mu kugezebwa kwabwe, nga babonyaabonyezebwa ennyo, baafuna essanyu lingi, ne libaleetera okugaba nga tebeebalira, newaakubadde nga baavu nnyo.
[3] Era nkakasa nti baagaba ng'okufuna kwabwe bwe kuli. Naye era baasinzaawo, ate nga beeyagalidde bokka.
[4] Baatwegayirira nnyo bakkirizibwe okwegatta n'abo abayamba abantu ba Katonda.
[5] Era baakola kye twali tutasuubira! Okusooka beewaayo eri Mukama, era olw'okwagala kwa Katonda, ne beewaayo eri ffe.
[6] Kyetwava tusaba Tito eyatandika omulimu ogwo ogw'ekisa ajje agumalirize ne mu mmwe.
[7] Kale nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza ne mu kwogera ne mu kumanya ne mu kunyiikirira byonna era ne mu kutwagala, twagala musukkirire ne mu mulimu guno ogw'ekisa.
[8] Ekyo sikyogera nga mbalagira bulagizi, wabula mbalaga abalala nga bwe beetegese okuyamba, ndyoke ndabe nti okwagala kwammwe kwa mazima.
[9] Mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Mumanyi nti newaakubadde nga yali mugagga, kyokka yafuuka mwavu ku lwammwe, mmwe mulyoke mugaggawale olw'obwavu bwe.
[10] Amagezi ge mbawa ku kino, kwe kumaliriza ekyo kye mwatandika omwaka ogwayita. Mmwe mwasinga, si mu kukola kwokka, naye ne mu kusanyukira kye mukola.
[11] Kale obumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, bulabikire mu kukimaliriza, nga mukozesa ebyo bye mulina.
[12] Kuba oba nga mwegomba okubaako kye muwaayo, Katonda akkiriza ekyo kye mulina, sso si ekyo kye mutalina.
[13] Saagala muyambe balala ate mmwe mwerumye.
[14] Naye olw'obwenkanya, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, biyambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biriyamba mmwe mu kwetaaga kwammwe, walyoke wabeewo okwenkanankana.
[15] Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyakuŋŋaanya ebingi, tebyamuyitirirako, n'eyakuŋŋaanya ebitono, yafuna ebimumala.”
[16] Kyokka twebaze Katonda awadde Tito omwoyo ogubalumirwa ennyo nga ffe gwe tulina.
[17] Teyakoma ku kukkiriza bukkiriza kye twamusaba, wabula naye yennyini yali mwetegefu, era ajja kujja gye muli nga yeeyagalidde.
[18] Era awamu naye, tubatumidde owooluganda amanyiddwa ennyo ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. Amanyiddwa kubanga ategeeza abantu Amawulire Amalungi.
[19] Era ekirala, ebibiina by'abakkiriza Kristo bimulonze okutuwerekera n'okutuyamba mu mulimu guno ogw'ekisa, gwe tukola olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okulaga bwe twagala okuyamba.
[20] Twegendereza waleme kubaawo atwemulugunyiza olw'engeri gye tugabanyaamu ebirabo abantu bye bawa.
[21] Kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka, wabula ne mu maaso g'abantu.
[22] Era awamu nabo, tubatumidde owooluganda omulala, gwe tugezezza emirundi emingi, ne tusanga nga munyiikivu mu bintu bingi. Era kaakano yeeyongedde okuba omunyiikivu, kubanga abeesiga nnyo mmwe.
[23] Tito ye, ye mukozi munnange bwe tukola mu kubaweereza mmwe. Era baganda baffe abo, be babaka b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, era abaweesa Kristo ekitiibwa.
[24] Kale mu maaso g'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo, mubalage ekikakasa okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.