[1] Tumanyi nti ensiisira yaffe ey'oku nsi, gwe mubiri gwe tulimu, bw'eryabizibwa, Katonda alituwa ennyumba mu ggulu ey'olubeerera, etaazimbibwa bantu.
[2] Kya mazima, nga tukyali mu nsiisira eno, tusinda nga twegomba okwambazibwa omubiri ogw'omu ggulu gwe tulibeeramu,
[3] nga tusuubira nti bwe tuligwambazibwa, tuleme kusangibwa nga tuli bwereere.
[4] Kuba nga bwe tukyali mu mubiri guno, tusinda nga tuzitoowereddwa, si lwa kuba nti twagala okugwambulwa, wabula twagala kwongera kwambazibwa, olwo ogwo ogufa gulyoke gumiribwe obulamu.
[5] Eyatuteekerateekera ekyo ye Katonda, eyatuwa Mwoyo Mutuukirivu okuba omusingo.
[6] Kyetuva tuguma bulijjo. Era tumanyi nti bwe tuba nga tuli mu mubiri guno, tuba wala ne Mukama.
[7] Tutambulira ku kukkiriza, sso si ku kulaba.
[8] Tuguma, era kye twandisinze okwagala, kwe kuva mu mubiri guno, tube wamu ne Mukama.
[9] N'olwekyo kye tugenderera, kwe kumusanyusa, ne bwe tuba ewala, ne bwe tuba okumpi naye.
[10] Ffenna tuli ba kulabika mu maaso g'entebe ya Kristo kw'asalira emisango, buli omu alyoke aweebwe ekimusaanira, okusinziira ku birungi oba ku bibi bye yakola, ng'akyali mu mubiri guno.
[11] N'olwekyo nga bwe tumanyi nti kituufu okutya Mukama, tugezaako okukkirizisa abantu. Kyokka Katonda amanyi nga bwe tuli, era nsuubira nti nammwe mumanyi mu mitima gyammwe.
[12] Tetuddamu kweyanjula gye muli, naye tubawa kye munaasinziirangako okwenyumiriza ku lwaffe, mulyoke mubenga n'ekyokuddamu abo abeenyumiririza mu byokungulu, sso si mu ebyo eby'omu mutima.
[13] Oba nga tulaluse, tulaluse lwa Katonda. Oba nga tulina amagezi agateredde, tuli nago lwa kugasa mmwe,
[14] era tufugibwa kwagala kwa Kristo.
[15] Tumanyi nti omu yafiirira bonna, olwo abo abalamu balemenga kuba balamu ku lwabwe, wabula babenga balamu ku lw'oyo eyabafiirira, n'azuukira.
[16] N'olwekyo, okuva kaakano tetukyakozesa magezi ga bantu buntu okumanya omuntu. Newaakubadde nga twamanyako Kristo mu ngeri eyo, naye kaakano si bwe tumumanyi.
[17] Buli eyeegatta awamu ne Kristo, kyava aba muntu muggya: empisa ez'obulamu obw'edda nga ziweddewo, olwo ng'empisa ez'obulamu obuggya zitandise.
[18] Ebyo byonna biva eri Katonda eyatutabaganya naye yennyini, ng'ayita mu Kristo, era n'atuwa omulimu ogw'obutabaganya.
[19] Kwe kugamba nti Katonda yali mu Kristo, ng'atabaganya abantu bonna naye yennyini, nga tabavunaana bibi byabwe, era yatukwasa obubaka obw'okutabaganya.
[20] N'olwekyo tuli babaka ba Kristo, Katonda ng'ali ng'abeegayirira mmwe, ng'ayita mu ffe. Tubeegayirira mu linnya lya Kristo, mutabagane ne Katonda.
[21] Kristo ataalina kibi, Katonda yamufuula ekibi, ffe olw'okwegatta awamu ne Kristo, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda.