Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:27

[1] Tekinneetaagisa kubawandiikira olw'ebirabo ebikuŋŋaanyizibwa okuyamba abantu ba Katonda ab'omu Buyudaaya.

[2] Mmanyi nti muli beetegefu okuyamba, era kindeetera okwenyumiriza eri ab'omu Makedooniya, nga mbagamba bo nti: “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bukubirizza bangi mu bo.

[3] Naye mmwe mbatumidde, abooluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere, wabula mube beetegefu nga bwe nagamba.

[4] Sikulwa ng'abamu ku b'omu Makedooniya bajja nange, ne tusanga nga temuli beetegefu, ffe, ne bwe siiyogere ku kuswala okwammwe, ne tufa ensonyi, olw'okubeesigira obwereere.

[5] Kyenvudde ndowooza nti kituufu okubatumira abooluganda bansooke okujja gye muli, bateeketeeke ekirabo ekyo kye mwasuubiza, kisangibwe nga kitegekeddwa lwa kweyagalira, sso si lwa kuwalirizibwa.

[6] Mujjukire nti oyo asiga ng'akekkereza ensigo, alikungula bitono; kyokka oyo asiga ennyingi, alikungula bingi.

[7] Kale buli omu akole nga bw'amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya, wadde olw'okuwalirizibwa. Katonda ayagala oyo agaba nga musanyufu.

[8] Era Katonda ayinza okubawa ebyo ebisinga ku bye mwetaaga, mulyoke mube na bingi bulijjo, era mugabe bingi olwa buli mulimu omulungi.

[9] Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagaba nnyo ng'agabira abaavu. Obutuukirivu bwe bwa mirembe gyonna.”

[10] Era Katonda awa omusizi ensigo, n'amuwa n'emmere ey'okulya, anaayazanga ensigo zammwe ne mweyongera okugaba.

[11] Anaabagaggawazanga mu byonna ne mugaba nnyo, abantu balyoke beebazenga Katonda olw'ebyo bye tukoze.

[12] Okukola omulimu guno tekukoma ku kuyamba bantu ba Katonda kyokka, naye era kwongera okuleetera abantu okwebaza ennyo Katonda.

[13] Ekyo kye mukola kikakasa okukkiriza kwammwe, era kireetera abantu okuwa Katonda ekitiibwa, si lwa kukkiriza Amawulire Amalungi kyokka, wabula era mugagondera, ne mubawa ku byammwe era ne muwa n'abalala bonna.

[14] N'engeri gye babasabiramu eri Katonda, eraga nga bwe babaagala ennyo, kubanga Katonda yabakwatirwa mmwe ekisa ekitasangikasangika.

[15] Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekyo ekitanyumizika.

Ebbaluwa Eyookubiri Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters