Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:04

[1] Njogerera ddala mazima mu Kristo, sirimba, n'omwoyo gwange nga gufugibwa mu Mwoyo Mutuukirivu, gukinkakasa

[2] nti ndi munakuwavu nnyo, era nnina obulumi obutakkiriza mutima gwange kuwummula,

[3] kubanga nandyagadde nze mwene, nkolimirwe Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab'eggwanga erimu.

[4] Be Bayisirayeli, abaaweebwa omukisa okuba abaana ba Katonda, era abaaweebwa ekitiibwa, n'endagaano, n'Amateeka, n'engeri ey'okusinzangamu Katonda, era abaasuubizibwa ebirungi.

[5] Bajjajjaabwe, Kristo ng'omuntu be yasibukamu. Katonda afuga byonna, atenderezebwenga emirembe gyonna. Amiina.

[6] Naye si kwe kugamba nti ebyo Katonda bye yasuubiza byalema okutuukirizibwa. Abayisirayeli bonna si be Bayisirayeli ddala.

[7] Era abazzukulu ba Aburahamu mu mubiri, si be baana ba Katonda. Wabula kyawandiikibwa nti: “Mu Yisaaka mwe muliva abaliyitibwa abazzukulu bo.”

[8] Ekyo kitegeeza nti abo abazaalibwa mu kuzaalibwa okwa bulijjo, si be baana ba Katonda; wabula abo abazaalibwa nga kiva ku kusuubiza kwa Katonda, be babalwa okuba abazzukulu ba Aburahamu abatuufu.

[9] Katonda bwe yali asuubiza, yagamba nti: “Ndikomawo mu kiseera ekituufu, era Saara aliba alina omwana ow'obulenzi.”

[10] Era si ekyo kyokka. N'abaana ba Rebbeeka baalina kitaabwe omu, Yisaaka jjajjaffe.

[11] Naye bwe baali nga tebannaba na kuzaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola ekirungi oba ekibi, Katonda n'agamba Rebbeeka nti: “Omukulu ye aliweereza omuto.” Kino kyali bwe kityo, kiryoke kikakase nti Katonda alonda oyo gw'aba ayise, nga tasinziira ku ebyo abantu bye bakola.

[13] Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yakobo namwagala, kyokka Esawu ne mmukyawa.”

[14] Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti Katonda si mwenkanya? Nedda si bwe kiri,

[15] kubanga yagamba nti: “Ndisaasira oyo gwe nsaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe nkwatirwa ekisa.”

[16] N'olwekyo tekiva ku ebyo omuntu by'ayagala wadde by'akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.

[17] Ekyawandiikibwa kigamba Faraawo nti: “Nakutuusa ku bukulu, ndyoke njoleseze obuyinza bwange mu ggwe, era mmanyise erinnya lyange mu nsi zonna.”

[18] N'olwekyo Katonda asaasira oyo gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza omutima gw'oyo gw'ayagala okukakanyaza omutima.

[19] Kale onoŋŋamba nti: “Oba nga bwe kityo bwe kiri, lwaki Katonda anenya omuntu? Ani ayinza okuziyiza Katonda ky'ayagala?”

[20] Naye ggwe omuntu, ddala ggwe ani awakanya Katonda? Ekibumbe kigamba omubumbi nti: “Lwaki wammumba bw'oti?”

[21] Omubumbi tayinza kukola ky'ayagala mu bbumba lye, ekitole ekimu n'akibumbamu ekibya ekyekitiibwa, n'ekirala ekigayibwa?

[22] Ne Katonda si ky'ekyo kye yakola? Yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe. Kyeyava agumiikiriza ennyo abo be yasunguwalira, abaateekerwateekerwa okuzikirira.

[23] Era yayagala okulaga ekitiibwa kye ekinene ennyo eri abo be yakwatirwa ekisa, era abo okuva edda be yateekerateekera ekitiibwa.

[24] Abo ye ffe be yayita, si mu Bayudaaya bokka, wabula ne mu b'amawanga amalala,

[25] nga bw'agamba mu Kitabo kya Hoseya nti: “Abataali bantu bange, ndibayita abantu bange. Ne gwe nali ssaagala, ndimuyita mukwano gwange.

[26] Mu kifo kyennyini mwe baayitirwa abatali bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda Nnannyinibulamu.”

[27] Ne Yisaaya ayogera ku Yisirayeli n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Abantu ba Yisirayeli ne bwe balyenkana omusenyu gw'ennyanja obungi, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.

[28] Mukama talirema kusalawo kutuukiriza mangu kye yagamba okukola ku nsi.”

[29] Era nga Yisaaya bwe yagamba edda nti: “Singa Mukama Omuyinzawaabyonna teyatulekerawo zzadde, twandibadde nga Gomora.”

[30] Kale tunaagamba tutya? Tunaagamba nti ab'amawanga amalala abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukirivu, kwe kugamba, obutuukirivu obuva mu kukkiriza.

[31] Naye Abayisirayeli, abaanoonyanga Amateeka ag'okubatuusa ku butuukirivu obwo, tebaagazuula.

[32] Lwaki? Kubanga tebaabugoberera nga beesigama ku kukkiriza, naye beesigama ku bye bakola, ne beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako.

[33] Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba nteeka mu Siyooni ejjinja eryesittalwako, olwazi olulibasuula. Era buli akkiriza oyo, taliswazibwa.”

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abarooma — Chapters