Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:08

[1] Mbanjulira mwannyinaffe Foyibe, omuweereza w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu Kenkereya.

[2] Mumwanirize ng'abantu ba Katonda bwe baaniriza, kubanga muntu wa Mukama waffe. Era mumuwe kyonna kye yeetaaga ng'ali nammwe, kubanga naye yennyini yayamba bangi, nga nange sibuzeemu.

[3] Munnamusize Priska ne Akwila, be nkola nabo mu kuweereza Kristo Yesu,

[4] abeewaayo okusalwako obulago okuwonya obulamu bwange. Abo si nze mbeebaza nzekka, wabula n'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo eby'abamawanga amalala bibeebaza.

[5] Munnamusize n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu nnyumba yaabwe. Munnamusize mukwano gwange Epayineeto, eyali omubereberye mu Asiya okukkiriza Kristo.

[6] Munnamusize Mariya eyabateganira mmwe ennyo bw'atyo.

[7] Munnamusize Anduroniiko ne Yuniya baganda bange, be nali nabo mu kkomera, abamanyiddwa obulungi mu batume, era abansooka okubeera abagoberezi ba Kristo.

[8] Mulamuse Ampuliyaato, mukwano gwange mu Mukama waffe.

[9] Mulamuse Wurubaano akolera awamu naffe mu kuweereza Kristo, mulamuse ne Sutaaku mukwano gwange.

[10] Mulamuse Apele Omukristo omutuufu. Mulamuse ab'omu maka ga Arisitobulo.

[11] Munnamusize ne Herodiyooni, muganda wange. Mulamuse n'ab'omu nnyumba ya Narukiso, abagoberezi ba Mukama waffe.

[12] Munnamusize Turufayina ne Turufoosa abakola omulimu gwa Mukama waffe. Munnamusize ne Perusi omwagalwa, akoledde ennyo Mukama waffe.

[13] Mulamuse Ruufo omulondemu wa Mukama waffe. Mulamuse ne nnyina eyafuuka mmange.

[14] Mulamuse Asunkurito, Fulegooni, Herume, Paturoba, Heruma, n'abooluganda abali awamu nabo.

[15] Mulamuse Filologo ne Yuliya, Nerewo ne mwannyina, ne Olimpa, n'abantu ba Katonda bonna abali nabo.

[16] Mulamusagane mu ngeri eraga okwagalana okw'abooluganda. Ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo bibalamusizza.

[17] Abooluganda, mbeegayiridde mwerindenga abo abaleeta ebyawukanya n'ebyesittaza abantu, ebirwanyisa okuyigirizibwa kwe mwafuna. Mubeewalenga.

[18] Ab'engeri eyo si baweereza ba Kristo Mukama waffe, wabula baweereza ba mbuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi era eby'okuwaanawaana, ne balimbalimba emitima gy'abantu abatalina kabi.

[19] Wonna wonna abantu baawulira nga mmwe bwe muli abawulize eri Katonda, kyenva mbeera omusanyufu ku lwammwe. Njagala mubenga bagezi mu kukola ebirungi, naye nga temumanyi kukola bibi.

[20] Olwo amangu ddala Katonda atuwa emirembe, ajja kubetentera Sitaani wansi w'ebigere byammwe. Emikisa gya Mukama waffe Yesu gibeerenga nammwe.

[21] Timoteewo akolera awamu nange abalamusizza.

[22] Era nange Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.

[23] Gaayo ansuza, era nga mu nnyumba ye mwe mukuŋŋaanira ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, abalamusizza. Erasto omuwanika w'ekibuga era ne muganda waffe Kwanto babalamusizza.

[25] Tutenderezenga Katonda ayinza okubanyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire Amalungi ge ntegeeza abantu, ge ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna.

[26] Naye kaakano ekyama ekyo kyamanyisibwa mu byawandiikibwa abalanzi. Era Katonda ataggwaawo yalagira kimanyibwe ab'amawanga gonna, abantu balyoke bakkirize Katonda era bamuwulirenga.

[27] Kale Katonda oyo omu era omugezi yekka, aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe n'emirembe. Amiina.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abarooma — Chapters