[1] Abooluganda, omutima gwange kye gwagala, era kye nsabira Abayisirayeli eri Katonda, kye kino nti balokolebwe.
[2] Nkakasa nga banyiikirira okussaamu Katonda ekitiibwa, naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.
[3] Tebaamanya ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu, bwe batyo ne bagezaako okwezuulira ekkubo eryabwe ku bwabwe, ne batagoberera ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu.
[4] Ekigendererwa ky'Amateeka kituukirizibwa mu Kristo, buli akkiriza alyoke abe mutuukirivu.
[5] Musa yawandiika ebikwata ku butuukirivu obuva mu kuwulira Amateeka, nti alibugoberera bulimuweesa obulamu.
[6] Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba bwe buti nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: Ani alirinnya mu ggulu?” - kwe kugamba, okuggyayo Kristo akke ku nsi
[7] oba nti: “Ani alikka emagombe?” - kwe kugamba, aggyeyo Kristo okuva mu bafu.
[8] Kale obutuukirivu obwo bugamba butya? Bugamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiri kumpi naawe; kiri mu kamwa ko, ne mu mutima gwo” - kwe kugamba, kye kigambo kye tutegeeza abantu, ekifa ku kukkiriza.
[9] Bw'oyatula n'akamwa ko nti: Yesu ye Mukama, era n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza, olirokolebwa.
[10] Omuntu akkiriza na mutima gwe n'aba omutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n'alokolebwa.
[11] Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti “Buli amukkiriza taliswazibwa,”
[12] tekisosola Muyudaaya na wa ggwanga ddala. Bonna Mukama waabwe ye omu, agaggawaza bonna abamukoowoola.
[13] Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokolebwa.”
[14] Naye baliyinza batya okukoowoola gwe batannakkiriza? Era baliyinza batya okukkiriza gwe batawulirangako? Era baliyinza batya okumuwulirako, nga tewali abategeeza?
[15] Era baliyinza batya okutegeezebwa, nga tewali batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Okujja kw'abo abaleeta Amawulire Amalungi nga kulungi!”
[16] Naye si bonna abakkiriza Amawulire Amalungi. Yisaaya agamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye twayogera?”
[17] N'olwekyo okukkiriza kuva mu ebyo ebiwulirwa, n'ebiwulirwa biva mu kutegeeza bantu ebifa ku Kristo.
[18] Naye ka mbuuze: tebabiwuliranga? Ddala baabiwulira, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n'ebigambo byabwe byatuuka ensi gy'ekoma.”
[19] Era ka mbuuze: abantu ba Yisirayeli tebamanyi? Musa ye yasooka okugamba nti: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abantu abatali ggwanga, mbaleetere mmwe okusunguwalira eggwanga eritalina magezi.”
[20] Ne Yisaaya aguma n'agamba nti: “Nalabibwa abo abatannoonyanga. Nalabikira abo abatambuulirizanga.”
[21] Kyokka eri Yisirayeli agamba nti: “Olunaku lwonna nalumala nga ngololedde emikono gyange abantu abatawulira era abajeemu.”