Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:18

[1] Kale abooluganda, mbeegayirira olw'okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe eri Katonda, gibe ekitambiro naye nga kiramu, ekitukuvu era ekimusanyusa. Okwo kwe kumusinzanga okw'amazima.

[2] Empisa zammwe mulemenga kuzifaananya n'ez'abantu ab'ensi, wabula mukyuke, mufune endowooza empya, mulyoke musobole okumanya ebyo Katonda by'ayagala: ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu.

[3] Olw'ekisa Katonda kye yankwatirwa, ŋŋamba buli omu mu mmwe nti tasaanidde kwerowoozaako kiyitiridde, wabula yeerowoozengako mu ngeri esaanira, era yeekeberenga okusinziira ku kipimo ky'okukkiriza, Katonda kwe yamuwa.

[4] Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, nga byonna tebikola mulimu gumu,

[5] naffe bwe tutyo bwe tuli. Newaakubadde tuli bangi, naye tuli omubiri gumu mu Kristo, era tugattibwa wamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu.

[6] Kale tukozesenga ebirabo bye tulina ebyenjawulo, okusinziira ku kisa Katonda kye yatukwatirwa. Bwe kiba ekirabo eky'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, tukibategeezenga ng'okukkiriza kwaffe bwe kuli.

[7] Oba twafuna kuweereza, tunyiikirenga okuweereza. Oyo ayigiriza, anyiikirenga okuyigiriza.

[8] Abuulirira abalala, anyiikirenga okubabuulirira. Agaba, agabenga n'omutima gumu. Ali mu buyinza, abeerenga munyiikivu. N'oyo akolera abalala eby'ekisa, abikolenga nga musanyufu.

[9] Okwagalana kwammwe kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi.

[10] Mwagalanenga ng'abooluganda. Buli omu anyiikirirenga okuwa munne ekitiibwa.

[11] Mubeerenga banyiikivu, temugayaalanga. Mweweereyo ddala mu kuweereza Mukama.

[12] Okusuubira kwammwe kubakuumenga nga muli basanyufu. Mugumiikirizenga mu kubonaabona kwammwe, muyimusenga emitima gyammwe eri Katonda bulijjo.

[13] Mutoolenga ku byammwe muwe abantu ba Katonda bye beetaaga. Mwanirizenga abagenyi.

[14] Musabenga Katonda awe emikisa abo ababayigganya. Mubasabirenga mikisa, naye mulemenga kubakolimira.

[15] Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; munakuwalirenga wamu n'abo abanakuwala.

[16] Mussenga kimu mwenna. Temwekulumbazanga.

[17] Omuntu bw'akolanga ekibalumya, mmwe temwesasuzanga. Mukolenga ekyo abantu bonna kye balaba nga kye kirungi.

[18] Mukolenga kyonna kye musobola okutabagananga n'abantu bonna.

[19] Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye mulekenga Katonda ye abanga awoolera eggwanga. Mu byawandiikibwa, Mukama agamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.”

[20] N'olwekyo, era ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba: “Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga ekyokulya n'alya, era bw'alumwanga ennyonta omuwanga ekyokunywa n'anywa. Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi.

[21] Towangulwanga bibi bikukolebwa balala, naye ggwe biwangulenga ng'okola ebirungi.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abarooma — Chapters