Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:27

[1] Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga obuyinza bwonna buva eri Katonda, era abafuzi abaliwo, Katonda ye yabateekawo.

[2] N'olwekyo ajeemera abafuzi, aba ajeemedde abo Katonda be yateekawo. Era abajeema, balyereetera omusango,

[3] kubanga abafuzi tebaba ba kutiisa abo abakola obulungi, wabula abo abakola obubi. Oyagala obutatiisibwa mufuzi? Kale kola bulungi, olwo ajja kukusiima,

[4] kubanga ye muweereza wa Katonda ku lw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi tya, kubanga obuyinza bw'alina si bwa bwereere. Ye muweereza wa Katonda, era ye abonereza abakola obubi.

[5] N'olwekyo musaanidde okuba abawulize, si lwa kutya kubonerezebwa kwokka, naye n'olw'obulungi bw'emyoyo gyammwe.

[6] Era kyemuva muwa omusolo, kubanga abafuzi baba baweereza ba Katonda, bwe banyiikirira emirimu gyabwe.

[7] Kale bonna mubawenga bye muteekwa okubawa: asolooza omusolo mugumuwe, asolooza empooza mugimuwe, ateekwa okutiibwa mumutye, n'oweekitiibwa mukimuwe.

[8] Temubeeranga na bbanja eri muntu n'omu, wabula okwagalananga, kubanga ayagala muntu munne aba atuukirizza Amateeka.

[9] Ebiragiro bino: “Toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, tobeeranga na kwegomba kubi”, n'ebiragiro ebirala, byonna bigattiddwa mu kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”

[10] Alina okwagala, takola muntu munne kabi. N'olwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza Amateeka gonna.

[11] Ate ebyo nga bikyali awo, mumanyi nti kino kye kiseera, essaawa etuuse, mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano okulokolebwa kwaffe kuli kumpi okusinga we twatandikira okukkiriza.

[12] Ekiro kinaatera okuggwaako, olunaku lusembedde. Kale tuve mu ebyo bye tubadde tukola mu kizikiza, tukwate ebyokulwanyisa bye tunaakozesa emisana.

[13] Tube n'empisa ezisaanira abantu abali mu kitangaala, sso si ez'abo abali mu kizikiza. Tuleme kwemalira mu binyumu ne mu kutamiira, newaakubadde mu bwenzi ne mu bukaba, wadde mu kuyombanga ne mu buggya.

[14] Naye mwambale Mukama Yesu Kristo, mulemenga kuwa mubiri bbeetu okukolanga bye gwegomba.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abarooma — Chapters