Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:12

[1] Nze Pawulo omuweereza wa Kristo Yesu, nayitibwa okuba omutume, ne nnondebwa okubunyisa Amawulire Amalungi agava eri Katonda.

[2] Amawulire Amalungi ago Katonda ge yasuubiriza edda mu byawandiikibwa, ng'ayita mu balanzi be,

[3] agafa ku Mwana we. Ng'omuntu, Omwana oyo yazaalibwa nga muzzukulu wa Dawudi.

[4] Kyokka olw'obuyinza bwe, obusibuka mu butukuvu bwe yalina mu mwoyo, era n'olw'okuzuukira kwe, yakakasibwa nti Mwana wa Katonda. Ye Yesu Kristo Mukama waffe,

[5] eyatukwatirwa ekisa ne tuba abatume, tutuuse amawanga gonna ku buwulize obuva mu kumukkiriza.

[6] Nammwe muli mu abo, abaayitibwa okuba aba Yesu Kristo.

[7] Mmwe mwenna abaagalwa ba Katonda abali e Rooma, era abaayitibwa okuba abantu be, Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.

[8] Okusooka, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yesu Kristo, ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi yonna.

[9] Katonda gwe mpeereza n'omutima gwange gwonna, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Omwana we, ye alaba bwe mbajjukira bulijjo mu ssaala zange,

[10] nga mmwegayirira nti ye bw'asiima, ntambule bulungi, nsobole olumu okutuuka gye muli,

[11] kubanga neegomba okubalabako, mbasobozese okufuna ekirabo ekigasa omwoyo.

[12] Kwe kugamba: tusanyukire wamu olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange.

[13] Abooluganda, njagala mumanye nti emirundi mingi nayagala okujja gye muli, nkole omulimu ogw'omugaso ne mu mmwe, nga bwe ngukola mu b'amawanga amalala. Naye n'okutuusa kaakano nkyalemeseddwa.

[14] Nnina obuvunaanyizibwa okuyamba Abayonaani n'ab'amawanga agatannagunjuka, abayigirize n'abatali bayigirize.

[15] Nammwe abali e Rooma, kyenva njagala ennyo okubategeeza Amawulire Amalungi.

[16] Amawulire Amalungi tegankwasa nsonyi, kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola bonna abakkiriza, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.

[17] Mu Mawulire Amalungi, obutuukirivu obuva eri Katonda mwe bulabikira. Obutuukirivu obwo Katonda abutuwa lwa kukkiriza, era bweyongerera mu kukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu anaabeeranga mulamu lwa kukkiriza.”

[18] Katonda ng'asinziira mu ggulu, alaga bw'asunguwalira abantu bonna abatamussaamu kitiibwa era ababi, abaziyiza amazima okumanyibwa olw'empisa zaabwe embi.

[19] Ebisoboka okumanyibwa ku Katonda, babiraba bulungi, kubanga Katonda yabibalaga.

[20] Okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo era n'obwakatonda bwe, birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda. N'olwekyo tebalina kyakwewolereza,

[21] kubanga newaakubadde nga Katonda baamumanya, kyokka tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, wadde okumwebaza, wabula ebirowoozo byabwe byadda mu bitagasa, emitima gyabwe emisirusiru ne gijjuzibwa ekizikiza.

[22] Mu kweyita abagezi, baafuuka basiru.

[23] Ekitiibwa kye bandiwadde Katonda ataggwaawo, ne bakiwa ebifaananyi by'abantu obuntu, n'eby'ebinyonyi, n'eby'ensolo, n'eby'ebyewalula.

[24] Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby'ensonyi, ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.

[25] Baagaana amazima agafa ku Katonda, ne bakkiriza eby'obulimba, ne basinzanga, era ne baweerezanga ebitonde, mu kifo ky'Omutonzi atenderezebwa emirembe n'emirembe. Amiina.

[26] Katonda kyeyava abaleka ne bafugibwa okwegomba kwabwe okubi: abakazi baabwe ne bagaana ebyo emibiri gyabwe bye gyatonderwa, ne bagikozesanga ebyo bye gitaatonderwa.

[27] N'abasajja ne bakolanga bwe batyo: ne balekayo okumanyanga abakazi, ne babugujjanga okwegomba basajja bannaabwe, era ne bakolanga nabo eby'ensonyi, bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe.

[28] Era nga bwe baagaana okumanya Katonda, ne Katonda kyeyava abaleka ne bagwagwawala emitima, ne bakolanga ebitasaana.

[29] Bajjudde ebyonoono ebya buli ngeri, obubi, omululu, n'ettima. Bajjudde obuggya, obussi bw'abantu, obuyombi, n'okulowooza obubi ku balala. Bageya,

[30] basalaganako ebigambo, bakyawa Katonda, bavuma bannaabwe, beekulumbaza, beewaanawaana, era banoonyereza amakubo ag'okukola ebibi. Tebawulira bazadde baabwe.

[31] Basirusiru tebalina mazima, tebaagalana era tebalina kusaasira.

[32] Newaakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango nti abakola ebyo basaanidde kufa, naye babikola. Ate tebakoma ku kubikola kwokka, naye basiima n'abo ababikola.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abarooma — Chapters