[1] Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki?
[2] Kugasa mu ngeri yonna. Okusookera ddala, Abayudaaya be baakwasibwa ekigambo kya Katonda.
[3] Kale kiba kitya abamu ku bo bwe bataba beesigwa? Obuteesigwa bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda?
[4] Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Oba mutuufu mu bigambo byo. Bw'osalirwa omusango ggwe osinga.”
[5] Naye oba nga ffe okuba ababi kiragira ddala nga Katonda bw'asala omusango mu bwenkanya, tunaagamba tutya? Tugambe nti Katonda bw'atubonereza aba mubi? Njogera ng'abantu bwe boogera.
[6] Nedda, tekisoboka. Katonda bw'ataba mwenkanya, ate olwo ayinza atya okulamula ensi?
[7] Naye obulimba bwange bwe bwongera okulaga nga Katonda bw'ali ow'amazima, n'aweebwa ekitiibwa, nze ate lwaki mba nkyasalirwa omusango okunsinga ng'omwonoonyi?
[8] Era lwaki tetugamba–nga bwe batuwaayiriza era ng'ambamu bwe batulumiriza nti bwe tugamba–nti tukle ebibi mulyoke muveemu ebirungi? – ng'abamu bwe batuwaayiriza nti bwe tugamba. Abo basaanidde okusalirwa omusango okubasinga.
[9] Kale olwo ffe Abayudaaya tulina kye tusinza abalala? Nedda, tetukirina, nga bwe nasoose okulaga nti abantu bonna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, bafugibwa kibi,
[10] nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali mutuukirivu wadde omu.
[11] Tewali ategeera, wadde anoonya Katonda.
[12] Bonna baawaba, bonna awamu baakola ebitasaana. Tewali akola kirungi, wadde omu bw'ati.
[13] Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde. Ennimi zaabwe bazoogeza bya bukuusa. Bye boogera bya kabi ng'obusagwa bw'enswera.
[14] Akamwa kaabwe kajjudde ebikolimo n'ebigambo eby'obukambwe.
[15] Banguwa okugenda okutta abantu.
[16] Buli gye bayita baleetera abantu okuzikirira era n'okunakuwala.
[17] Tebamanyi kuleetera bantu mirembe.
[18] Era tebafa ku kussaamu Katonda kitiibwa.”
[19] Tumanyi nti byonna ebiri mu Mateeka bikwata ku abo abafugibwa Amateeka ago, waleme kubaawo yeewolereza, wabula ab'oku nsi bonna Katonda abasalire omusango.
[20] Mu maaso ge, tewali muntu n'omu alibalwa okuba omutuukirivu olw'okutuukiriza ebiri mu Mateeka. Amateeka kye gakola, kwe kumanyisa omuntu nti akoze kibi.
[21] Naye kaakano obutuukirivu obuva eri Katonda nga tebuyita mu Mateeka, bulabise, era bukakasibwa Amateeka n'abalanzi,
[22] bwe butuukirivu Katonda bw'awa abantu bonna abakkiriza Yesu Kristo, kubanga bonna tewali njawulo.
[23] Bonna baayonoona, ne balemwa okutuuka ku kitiibwa Katonda kye yayagala babeere nakyo.
[24] Katonda olw'ekisa kye, yabawa obutuukirivu bwa buwa, kubanga baanunulibwa Yesu Kristo.
[25] Yesu oyo mu kufa kwe, yateekebwawo okuba omutango gw'ebibi by'abamukkiriza. Bw'atyo Katonda n'alaga nga bw'ali omutuukirivu, kubanga mu kugumiikiriza kwe, ebibi ebyakolebwa edda yabiyisaako amaaso,
[26] alyoke akakase mu kiseera kino, nga bw'ali omutuukirivu, era nga bw'awa obutuukirivu buli muntu akkiriza Yesu.
[27] Kale ekitwenyumirizisa kiki? Tekiriiwo. Lwaki tekiriiwo? Olw'ebyo bye tukola? Nedda, naye lwa kukkiriza.
[28] Tukakasiza ddala nti omuntu aba mutuukirivu lwa kukkiriza, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.
[29] Kazzi Katonda wa Bayudaaya bokka? Ab'amawanga amalala bo si waabwe? Ddala nabo waabwe,
[30] kubanga Katonda ali omu, era abakomole alibawa obutuukirivu ng'asinziira ku kukkiriza kwabwe, n'abatali bakomole alibubawa olw'okukkiriza kwabwe.
[31] N'olwekyo Amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza okwo? Nedda, tekisoboka, naye tuganyweza bunyweza.