[1] Kale munnange ggwe asalira abalala omusango, ne bw'obeera ani, tolina kyakwewolereza. Mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga, kubanga bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.
[2] Tumanyi ng'abakola ebyo, Katonda abasalira omusango okubasinga, nga tasaliriza.
[3] Kale ggwe munnange, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, ate nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala?
[4] Oba, ekisa kya Katonda ekingi n'obukwatampola, n'okugumiikiriza kwe, by'ogaya? Tomanyi nga Katonda akukwatirwa ekisa olyoke weenenye?
[5] Naye olw'obukakanyavu bw'omutima gwo ogutayagala kwenenya, weeterekedde okusalirwa omusango n'obukambwe, ku lunaku Katonda lw'aliragirako obusungu bwe ng'asala omusango awatali kusaliriza.
[6] Aliwa abantu bonna empeera, ng'asinziira ku bye baakola.
[7] Abo abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibawa obulamu obutaggwaawo.
[8] Naye abo ab'empaka era abatagoberera mazima, ne bagoberera ekitali kituufu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
[9] Abantu bonna abakola ebibi balibonyaabonyezebwa ne balumizibwa, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.
[10] Naye bonna abakola obulungi, baliweebwa ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala,
[11] kubanga Katonda tasosola mu bantu.
[12] Bonna aboonoona nga tebamanyi Mateeka, balizikirizibwa nga tebavunaanibwa Mateeka. Ate bonna aboonoona nga bamanyi Amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu Mateeka,
[13] kubanga abatuukirivu mu maaso ga Katonda, si be bo abawulira obuwulizi Amateeka, wabula abo abakola bye galagira.
[14] Ab'amawanga amalala abatalina Mateeka bwe bakolera ku kutegeera kwabwe, ne batuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, be baba bafuuse amateeka agabafuga, newaakubadde nga tebalina Mateeka gali,
[15] kubanga balaga nti Amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe. Kino n'eddoboozi ly'omutima gwabwe likikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza.
[16] Era okusinziira ku Mawulire Amalungi, ge ntegeeza abantu, ku bwa Yesu Kristo bwe kityo bwe kiriba, ku lunaku Katonda lw'alisalirako abantu omusango olw'ebyo bye baakisa.
[17] Naye ggwe eyeeyita Omuyudaaya, weesigama ku Mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda.
[18] Omanyi Katonda by'ayagala okole, era wayigirizibwa mu Mateeka okulondawo ekisinga obulungi.
[19] Okakasa nti oli mukulembeze wa bazibe b'amaaso, era amulisa abali mu kizikiza;
[20] aluŋŋamya abatalina magezi, era omuyigiriza w'abaana abato, kubanga mu Mateeka, mw'oggya byonna eby'amagezi n'eby'amazima.
[21] Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki ggwe teweeyigiriza? Ggwe ategeeza abantu obutabbanga, ate ggwe obba?
[22] Ogamba abalala nti temwendanga, ate ggwe n'oyenda? Okyawa ebitali Katonda, ate n'obba eby'omu masabo?
[23] Weenyumiririza mu mateeka ga Katonda, ate n'omuswaza ng'ogamenya?
[24] Kyawandiikibwa nti: “Mmwe muleetera erinnya lya Katonda okuvumibwa ab'amawanga amalala.”
[25] Okukomolebwa kugasa bw'okwata Amateeka, naye bw'ojeemera Amateeka, oba ng'atali mukomole.
[26] Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu Mateeka, talibalibwa ng'eyakomolebwa?
[27] Oyo ataakomolebwa mu mubiri, kyokka n'atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, talikusalira omusango okukusinga ggwe omumenyi w'Amateeka, newaakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu Mateeka, era nga wakomolebwa?
[28] Omuyudaaya ddala, si y'oyo alabikira ku byokungulu. Era okukomolebwa okw'amazima, si kwe kwo okwokungulu ku mubiri.
[29] Naye Omuyudaaya ddala ye Muyudaaya munda, eyafuna okukomolebwa okw'amazima, okutali kwa kungulu ku mubiri, wabula okw'omu mutima. Omuntu ng'oyo tatendebwa bantu, wabula Katonda.