Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:40

[1] Mwongere okwagalananga ng'abooluganda mu Kristo.

[2] Temwerabiranga kwaniriza bagenyi, kubanga waliwo abaayaniriza bamalayika nga tebamanyi.

[3] Mujjukirenga abasibe, nga muli ng'abaasibirwa awamu nabo. Era mujjukirenga abo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe mulina omubiri.

[4] Okufumbiriganwa kussibwengamu abantu bonna ekitiibwa, era obufumbo bukuumibwenga nga butukuvu, kubanga abakaba n'abenzi, Katonda alibasalira omusango.

[5] Mulemenga kuba ba mululu, bye mulina bibamalenga, kubanga Katonda yagamba nti: “Sirikuleka, era sirikwabulira n'akatono”.

[6] Kyetuva twogera n'obwesige nti: “Mukama ye mubeezi wange, siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”

[7] Mujjukire abakulembeze bammwe, abaabategeeza ekigambo kya Katonda. Mwetegereze ebyo bye baayitamu mu bulamu bwabwe, mugoberere okukkiriza kwabwe.

[8] Yesu Kristo nga bwe yali jjo, bw'ali ne leero, era bw'aliba emirembe n'emirembe.

[9] Mulemenga kuwubisibwa kuyigiriza okutali kumu, abantu kwe baleetereza. Kirungi okuba n'omutima ogunyweredde ku kisa kya Katonda, sso si ku bulombolombo bwa byakulya, obutagasa abo ababugoberera.

[10] Tulina alutaari, abo abaweereza mu weema gye batakkirizibwa kuliirako.

[11] Ssaabakabona atwala omusaayi gw'ensolo mu Kifo Ekitukuvu, n'aguwaayo olw'ebibi, naye zo ne zookerwa ebweru w'olusiisira.

[12] Ne Yesu kyeyava abonaabonera ebweru wa wankaaki w'ekibuga, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe.

[13] Kale tufulume, tugende gy'ali ebweru w'olusiisira, tuswale wamu naye.

[14] Kubanga ku nsi kuno tetulinaako kibuga kya lubeerera, wabula tunoonya ekyo ekigenda okujja.

[15] Kale tuweeyo eri Katonda ekitambiro eky'okumutenda, nga tukiyisa mu Yesu, nga twatula erinnya lye n'emimwa gyaffe.

[16] Era temwerabiranga okukola obulungi n'okuyambagana. Ebyo bye bitambiro ebisanyusa Katonda.

[17] Muwulirenga abakulembeze bammwe, era mubagonderenga, kubanga be balabirira emyoyo gyammwe, nga ba kugibuuzibwa. Mubasobozese okukikolanga n'essanyu, sso si na buwaze, kubanga ekyo tekiribaako kye kigasa mmwe.

[18] Mutusabirenga, kubanga tumanyi nti tulina omwoyo omulungi era twagala okukola obulungi mu buli kimu.

[19] Era mbeegayirira okunsabiranga ennyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.

[20] Kale Katonda ow'emirembe, eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w'endiga omukulu, olw'endagaano eteggwaawo, eyanywezebwa n'omusaayi gwe,

[21] abawe buli kirungi kyonna, mulyoke mukolenga by'ayagala, Katonda oyo akolere mu ffe by'asiima, ng'abiyisa mu Yesu Kristo, asaanidde okuweebwa ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.

[22] Abooluganda, mbasaba mugumiikirize bye mbabuuliridde, kubanga ebbaluwa eno gye mbawandiikidde, si mpanvu.

[23] Mbategeeza nti muganda waffe Timoteewo yateebwa. Era bw'alijja amangu, aliba wamu nange lwe ndibalaba mmwe.

[24] Mulamuse abakulembeze bammwe bonna, n'abantu ba Katonda bonna. Ab'omu Yitaliya babalamusizza.

[25] Katonda abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna. Amiina.

Ebbaluwa Eri Abeebureeyi — Chapters