[1] N'olwekyo kyetuva tuteekwa okunywerera ddala ku ebyo bye twawulira, sikulwa nga tubivaako.
[2] Oba ng'ebyo ebyayogerwa bamalayika byakakasibwa nga bya mazima, era buli ataabigobereranga, oba eyabijeemeranga, yaweebwanga ekibonerezo ekimusaanira,
[3] kale ffe tuliwona tutya ekibonerezo, bwe tuligayaalirira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo Mukama yennyini ye yasooka okubutegeeza abantu, era abo abaabuwulira, ne batukakasa nga bwe buli obw'amazima.
[4] Ne Katonda yennyini n'akakasa ebigambo byabwe, ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero era n'eby'amaanyi ebitali bimu, era ng'agaba n'ebirabo bya Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yayagala.
[5] Katonda teyawa bamalayika kufuga nsi gye twogerako, egenda okubaawo.
[6] Naye omu, waliwo w'akakasiza mu byawandiikibwa, ng'agamba nti: “Omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirwa?
[7] Wamutonda n'abulako katono okwenkana bamalayika. Wamutikkira engule eyeekitiibwa n'ettendo, n'omuwa okufuga ebintu byonna bye wakola.
[8] Ebintu byonna wabiteeka mu buyinza bwe.” Bwe yassa ebintu byonna mu buyinza bwe, talina kintu na kimu ky'ataamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba nga byonna abifuga.
[9] Wabula gwe tulaba ye Yesu. Olw'ekisa kya Katonda, yakolebwa n'abulako katono okwenkana bamalayika, alyoke afiirire abantu bonna. Tumulaba ng'atikkiddwa engule eyeekitiibwa n'ettendo, olw'okufa kwe.
[10] Katonda eyatonda ebintu byonna era abibeesaawo, yasiima okuleeta abaana be abangi mu kitiibwa. N'olwekyo yalaba nga kisaanye okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe, ng'ayita mu kubonaabona,
[11] kubanga abo abatukuzibwa era n'oyo abatukuza, bonna balina Kitaabwe omu. Era Yesu kyava takwatibwa nsonyi okubayita baganda be.
[12] Agamba nti: “Ndikumanyisa mu baganda bange, ndikutenderereza mu kkuŋŋaaniro wakati.”
[13] Era agamba nti: “Nja kwesiganga Katonda.” Era yeeyongera n'agamba nti: “Ndi wano n'abaana, Katonda be yampa.”
[14] Kale abo Yesu b'ayita abaana nga bwe bali abantu, naye yennyini yafuuka omuntu nga bo. Yakola bw'atyo, alyoke asobole okufa, era mu kufa kwe, azikirize Sitaani alina obuyinza ku kufa,
[15] bw'atyo alyoke awe eddembe abo bonna abaali abaddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.
[16] Mazima, bamalayika si be yajjirira okuyamba, wabula yajjirira kuyamba bazzukulu ba Aburahamu.
[17] Kyeyava afaanana nga baganda be mu byonna, alyoke aweereze Katonda nga Ssaabakabona ow'ekisa era omwesigwa, asonyiyisa abantu ebibi byabwe.
[18] Era kaakano asobola okuyamba abo abakemebwa, kubanga ye yennyini yakemebwa era n'abonaabona.