Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 7:01

[1] Okukkiriza kitegeeza okukakasa nti ebyo ebisuubirwa tulibifuna, era bwe butabuusabuusa mu ebyo bye tutalaba.

[2] Okukkiriza, kwe kwaleetera abantu ab'edda okusiimibwa Katonda.

[3] Okukkiriza, kwe kutusobozesa okutegeera nti ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika.

[4] Okukkiriza, kwe kwaleetera Abeli okuwaayo eri Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, ne kikakasa nti Abeeli mutuukirivu, kubanga Katonda yasiima ebirabo bye. Era olw'okukkiriza kwe, newaakubadde yafa, akyayogera.

[5] Okukkiriza, kwe kwaleetera Enoka okutwalibwa eri Katonda, nga tamaze kufa. Era oluvannyuma tewali yamulabako, kubanga Katonda yamutwala. Ekyo kyaba bwe kityo, kubanga bwe yali nga tannatwalibwa, kyakakasibwa nti yasanyusa Katonda.

[6] Tewali ayinza kusanyusa Katonda awatali kukkiriza, kubanga ajja eri Katonda, ateekwa okukkiriza nti Katonda waali, era nti agabira empeera abo abamunoonya.

[7] Noowa bwe yalabulwa Katonda ku byali bitannalabika, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwulira Katonda, n'azimba eryato okuwonya amaka ge. Bw'atyo yasalira ensi omusango, n'afuna obutuukirivu obuleetebwa okukkiriza.

[8] Okukkiriza, kwe kwaleetera Aburahamu okuwulira Katonda, bwe yamuyita ave ewaabwe alage mu nsi gye yali agenda okuweebwa. Bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'alaga.

[9] Era okukkiriza, kwe kwamuleetera okubeera mu nsi eyamusuubizibwa, n'agibeeramu ng'eri ng'etali yiye, ng'asula mu weema awamu ne Yisaaka ne Yakobo, nabo Katonda be yasuubiza ekintu kye kimu ekyo.

[10] Aburahamu yalindirira ekibuga Katonda kye yategeka, era kye yazimba, ekirina emisingi emigumu.

[11] Okukkiriza, kwe kwasobozesa Saara okuba olubuto, newaakubadde nga yali akaddiye. Yakkiriza nti Katonda eyamusuubiza, mwesigwa.

[12] N'olwekyo omuntu oyo omu Aburahamu, newaakubadde yali ng'afudde, yasibukamu abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, ogutabalika.

[13] Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebannafuna ebyo Katonda bye yasuubiza, wabula nga babirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakakasa nti bagenyi era bayise ku nsi kuno.

[14] Abo aboogera bwe batyo, balaga nti waliwo awalala gye basuubira okusanga obutaka bwabwe.

[15] Era singa baajulirira ensi gye baavaamu, bandisobodde okuddayo.

[16] Naye kaakano beegomba obutaka obusinga obulungi, bwe bw'omu ggulu. Katonda kyava takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe, kubanga yabateekerateekera ekibuga.

[17] Aburahamu, Katonda gwe yali asuubizza, bwe yagezebwa, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwaayo Yisaaka, omwana we omu yekka, abe ekitambiro.

[18] Katonda yali amugambye nti: “Mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu.”

[19] Aburahamu yamanya nti Katonda ayinza okuzuukiza abafu. Ne Katonda kyeyava amuddiza Yisaaka, ng'ali ng'avudde mu bafu.

[20] Okukkiriza, kwe kwasobozesa Yisaaka okusabira Yakobo ne Esawu omukisa mu ebyo ebyali bigenda okujja.

[21] Yakobo bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okusabira abaana ba Yosefu omukisa kinnoomu, n'akutama ku muggo gwe, n'asinza Katonda.

[22] Yosefu bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okwogera nti Abayisirayeli baliva mu Misiri, era n'alagira ebirikolebwa ku magumba ge.

[23] Musa bwe yazaalibwa, okukkiriza, kwe kwaleetera bazadde be okumukwekera emyezi esatu. Baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kuwakanya kiragiro kya kabaka.

[24] Musa bwe yakula, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okugaana okuyitibwa omwana wa muwala wa Faraawo.

[25] Yasiima okubonaabonera awamu n'abantu ba Katonda, okusinga okuba mu ssanyu ery'ekibi eriggwaawo amangu.

[26] Yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kusingira ddala wala obugagga bw'e Misiri, kubanga yamanya empeera gy'aliweebwa.

[27] Okukkiriza, kwe kwasobozesa Musa okuva e Misiri, n'atatya busungu bwa kabaka, kubanga yanywera, ng'ali ng'alaba Katonda atalabika.

[28] Okukkiriza, kwe kwamusobozesa okuteekawo Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'amansira omusaayi, Omuzikiriza aleme kutta baggulanda ba Bayisirayeli.

[29] Okukkiriza, kwe kwasobozesa Abayisirayeli okuyita mu Nnyanja Emmyufu, ng'abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako, amazzi ne gabasaanyaawo.

[30] Okukkiriza, kwe kwaleetera ebisenge by'Ekibuga Yeriko okugwa, nga bimaze ennaku musanvu nga byetooloolwa Abayisirayeli.

[31] Okukkiriza, kwe kwawonya malaaya Rahabu n'atazikiririra wamu n'abo abatakkiriza, kubanga yayaniriza abakessi.

[32] Nnyongereko ki ate? N'obudde bunaanzigwako bwe njogera ku Gidiyoni, Baraki, Samusooni, Yefuta, Dawudi, Samweli, ne ku balanzi. 16:1 Bassek 2:11; 1 Sam 1:1–25:1

[33] Olw'okukkiriza, abo baawangula obwakabaka, ne bakola eby'obutuukirivu, era ne bafuna ebyo Katonda bye yasuubiza. Baabuniza obumwa bw'empologoma,

[34] ne bazikiza omuliro ogw'amaanyi, ne bawona obwogi bw'ekitala. Baali banafu, ne bafuuka ba maanyi. Baafuuka bazira mu ntalo, ne bagoba eggye ly'ab'amawanga amalala.

[35] Abakazi ne baweebwa abantu baabwe abazuukidde. Abantu abalala baabonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, balyoke bazuukire okufuna obulamu obusinga obulungi.

[36] N'abalala baasekererwa ne bakubibwa era ne basibibwa, ne bateekebwa mu makomera. 38:6:

[37] Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi, nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, ne bayisibwa bubi,

[38] ensi nga tebasaanira. Ne batambulatambulanga mu malungu ne mu nsozi, nga basula mu mpuku ne mu binnya.

[39] Abo bonna Katonda yabasiima olw'okukkiriza kwabwe. Naye tebaafuna ebyo bye yasuubiza,

[40] kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi: bo baleme okutuukirizibwa, ffe nga tetuliiwo.

Ebbaluwa Eri Abeebureeyi — Chapters