Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:41

[1] Nze Yakobo omuweereza wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, mbalamusa mmwe ab'ebika ekkumi n'ebibiri ebisaasaanye wonna.

[2] Abooluganda, bwe mutuukibwangako ebizibu ebya buli ngeri, musanyukenga,

[3] nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe bwe kugezebwa, kibaviiramu okugumiikiriza.

[4] Okugumiikiriza bwe kunywerera ddala mu mmwe, mufuuka bantu abatuukiriridde ddala era abatalina kibabulako.

[5] Oba nga mu mmwe waliwo abuliddwa amagezi, asabe Katonda agabira bonna n'ekisa awatali kukodowala, galimuweebwa.

[6] Kyokka asabe ng'alina okukkiriza, nga tabuusabuusa n'akatono. Abuusabuusa, afaanaanyirizibwa n'ejjengo ly'ennyanja, empewo ly'etwala n'erizza eno n'eri.

[7] Omuntu ow'engeri eyo aleme kulowooza ng'aliko ky'alifuna okuva eri Mukama,

[8] kubanga wa myoyo ebiri, buli gy'adda tanywererayo.

[9] Owooluganda atali wa kitiibwa, asaanidde asanyuke nga Katonda amugulumizza.

[10] N'omugagga naye asaanidde asanyuke nga Katonda amutoowazizza, kubanga omugagga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo.

[11] Enjuba bw'eyaka n'ebbugumu lyayo eringi, ekaza omuddo, ekimuli kyagwo ne kigwa, n'obulungi bw'endabika yaakyo ne buggwaawo. N'omugagga bw'atyo bw'alikala, ng'ali mu ebyo bye yettanira.

[12] Omuntu agumiikiriza mu kugezebwa yeesiimye, kubanga bw'alimala okuwangula, aliweebwa engule ey'obulamu, Katonda gye yasuubiza abamwagala.

[13] Omuntu bw'akemebwanga, tagambanga nti: “Katonda ye ankema.” Katonda takemebwa kibi, era ye yennyini takema muntu n'omu.

[14] Wabula buli akemebwa, asikirizibwa era asendebwasendebwa kwegomba kwe.

[15] Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto, ne kuzaala ekibi, ate ekibi ekyo bwe kimala okukula, ne kizaala okufa.

[16] Kale nno baganda bange abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.

[17] Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukiridde, kiva mu ggulu, ne kikka okuva eri Katonda Kitaffe eyatonda ebyakira ku ggulu, atayinza kuba na kufuukafuuka, wadde okulimbalimba.

[18] Yateesa ku bubwe, n'atuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere n'ekifo ekisooka mu bitonde bye.

[19] Baganda bange abaagalwa, mumanye kino nti buli muntu abeerenga mwangu okuwulira, kyokka alemenga kubuguutanira kwogera, era alemenga kusunguwala mangu,

[20] kubanga obusungu bw'omuntu tebukola ebyo Katonda by'ayagala.

[21] Kale mulekenga emize gyonna n'empisa embi. Mukkirize n'obuwombeefu ekigambo kya Katonda ekyasigibwa mu mmwe, ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.

[22] Ekigambo ekyo mukikolerengako, mulemenga kwerimba, nga mukoma ku kukiwulira buwulizi.

[23] Awulira obuwulizi ekigambo n'atakikolerako, afaanaanyirizibwa n'omuntu eyeeraba mu ndabirwamu.

[24] Yeeraba n'agenda, ate amangwago ne yeerabira bw'afaananye.

[25] Kyokka eyeetegereza amateeka amatuufu agatufuula ab'eddembe, n'aganywererako, atali awulira obuwulizi ne yeerabira, wabula omukozi atuukiriza bye galagira, oyo anaaweebwanga omukisa mu by'akola.

[26] Buli eyeerowooza nga wa ddiini, kyokka n'atafuga lulimi lwe, oyo yeerimba bwerimbi, eddiini ye teriiko ky'egasa.

[27] Eddiini entuufu era eteriiko kamogo mu maaso ga Katonda Kitaffe, ye eno: okulabiriranga bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga ensi ereme kutwonoona.

Ebbaluwa Eyawandiikibwa Yakobo — Chapters