Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:55

[1] Amateeka g'Ekiyudaaya, kisiikirize busiikirize eky'ebirungi ebigenda okujja, sso si kifaananyi kyabyo ekituufu. Tegasobola kutukuliza ddala abo abaddiŋŋana ebitambiro bye bimu, buli mwaka.

[2] Singa gaali gasobola okubatukuliza ddala, ebitambiro byandibadde tebikyaweebwayo, kubanga ababiwaayo bandibadde batukuliziddwa ddala omulundi gumu, nga tebakyemanyiiko kibi.

[3] Naye mu bitambiro ebyo, mulimu kujjukizibwa ebibi buli mwaka,

[4] kubanga omusaayi gw'ente ennume n'ogw'embuzi teguyinza kuggyawo bibi.

[5] Kristo ng'ajja mu nsi, kyeyava agamba Katonda nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri.

[6] Ebyokebwa nga biramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabisiima.

[7] Kyennava ŋŋamba nti: Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda, ng'ekyawandiikibwa bwe kinjogerako mu kitabo ky'Amateeka.”

[8] Asooka kugamba nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo, n'ebyokebwa ebiramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabyagala era tewabisiima.” Ekyo yakyogera, newaakubadde ng'ebyo byonna byaweebwangayo ng'Amateeka bwe galagira.

[9] Ate n'agamba nti: “Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala.” N'olwekyo aggyawo ekisooka, alyoke anyweze ekyokubiri.

[10] Twatukuzibwa kubanga Yesu yakola ekyo Katonda ky'ayagala, bwe yawaayo omubiri gwe omulundi ogumu.

[11] Buli omu ku bakabona bali, ayimirira buli lunaku, n'awaayo emirundi mingi ebitambiro bye bimu, ebitayinza kuggyawo bibi.

[12] Naye Kristo yawaayo ekitambiro kimu kyokka ekyamala okuddaabiriza olw'ebibi, n'alyoka atuula emirembe gyonna, ng'aliraanye Katonda, ku ludda olwa ddyo.

[13] Eyo gy'alindira, okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ekirinnyibwako ebigere bye.

[14] Olw'okuwaayo ekitambiro ekyo ekimu, abo b'atukuza yabafunira obutuukirivu obw'emirembe gyonna.

[15] Era ne Mwoyo Mutuukirivu kino akitutegeeza. Asooka n'agamba nti:

[16] “Eno ye ndagaano gye ndikola nabo, ennaku ezo bwe zirituuka. Bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu magezi gaabwe.” Ate n'agamba nti:

[17] “N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.”

[18] Ebyo bwe bimala okusonyiyibwa, waba tewakyaliwo kuwangayo kitambiro olw'ebibi.

[19] Kale abooluganda, kaakano tuyinza okuyingira mu Kifo Ekitukuvu nga tetulina kutya, kubanga Kristo yafa ku lwaffe,

[20] n'atuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe.

[21] Tulina kabona omukulu bw'atyo, afuga ennyumba ya Katonda.

[22] Kale tusembere eri Katonda n'omwoyo ogutaliimu bukuusa, ogujjudde okukkiriza, nga tulina emitima egitukuziddwa, ne giggwaamu omwoyo omubi, nga n'emibiri gyaffe ginaaziddwa n'amazzi amatukuvu.

[23] Tunyweze essuubi lye tulina tuleme kulivaako, kubanga Katonda eyasuubiza mwesigwa.

[24] Tussenga omwoyo ku kukubiriza bannaffe okwagalana n'okukola ebikolwa ebirungi.

[25] Tuleme kugayaaliriranga nkuŋŋaana z'abagoberezi ba Kristo, ng'abamu bwe bakola. Naye buli omu agumye munne, naddala nga bwe mulaba nti Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka.

[26] Kuba singa twonoona mu bugenderevu nga tumaze okutegeezebwa amazima, waba tewakyaliwo kitambiro ekiweebwayo olw'ebibi.

[27] Ekiba kisigadde, kwe kuba mu kutya, nga tulindirira okusalirwa omusango, era n'obukambwe bw'omuliro ogugenda okwokya abalabe ba Katonda.

[28] Omuntu ajeemera amateeka ga Musa, attibwa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo abajulirwa babiri oba basatu abamusingisa omusango.

[29] Kale omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era omusaayi ogw'endagaano ogwamutukuza, n'agulaba ng'ogutali mutukuvu, era n'anyoomoola Mwoyo ow'ekisa, mulowooza nti talisaanira ekibonerezo ekisingawo obukambwe?

[30] Tumanyi oyo eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.” Era nti: “Mukama alisalira abantu omusango.”

[31] Kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda Nnannyinibulamu!

[32] Mujjukire ebiseera ebyayita, bye mwafuniramu ekitangaala kya Katonda, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw'amaanyi.

[33] Emirundi egimu mwavumibwa era ne mubonyaabonyezebwa mu lwatu, emirundi emirala ne mulumirwa wamu n'abo abaakolebwa bwe batyo.

[34] Mwalumirwa wamu n'abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu nga munyagiddwako ebyammwe, kubanga mwamanya nti mmwe mulina ebisingawo obulungi, era eby'olubeerera.

[35] Kale temusuulanga buvumu bwammwe, kubanga empeera yaabwo nnene.

[36] Mwetaaga okugumiikiriza, mulyoke mukole ebyo Katonda by'ayagala, era muweebwe kye yasuubiza.

[37] “Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo ow'okujja, ajje, era talirwa.

[38] Omutuukirivu wange anaabeeranga mulamu, lwa kukkiriza. Kyokka bw'addayo emabega, sirimusaasira.”

[39] Naye ffe tetuli mu abo abadda emabega, ne bazikirira, wabula tuli mu abo abakkiriza, ne balokolebwa.

Ebbaluwa Eri Abeebureeyi — Chapters