Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:06

[1] Kale naffe nga bwe tulina abajulirwa abangi bwe batyo abatwetoolodde, tweyambule buli kintu ekituzitoowerera, era n'ekibi ekitwesibako. Twetabe mu mpaka ez'okudduka ezituteereddwawo, era tudduke nga tuli bagumiikiriza,

[2] nga tutunuulira Yesu yekka eyatandika era atuukiriza okukkiriza kwaffe. Yesu oyo, olw'essanyu lye yali alindirira, yagumira omusaalaba, n'atatya kuswala. Kaakano atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ya Katonda.

[3] Mulowoozenga ku kuwakanyizibwa okwenkana awo, aboonoonyi kwe baamuwakanyaamu, mulyoke mulemenga okukoowa n'okuterebuka.

[4] Mu kulwanyisa ekibi, temunnalwana kutuuka ku kuyiwa musaayi gwammwe.

[5] Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa Katonda ng'ayogera nammwe ng'abaana? Agamba nti: “Mwana wange, togayanga kukangavvula kwa Mukama. Era toddiriranga bw'akunenyanga,

[6] kubanga oyo Mukama gw'ayagala, amukangavvula, era abonereza buli gw'ayita omwana we.”

[7] Mugumiikirizenga okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng'abaana be. Kale mwana ki kitaawe gw'atakangavvula?

[8] Naye bwe mutakangavvulwa ng'abalala bwe bakangavvulwa, muba beeboolereze, sso si baana ddala.

[9] Twalina bakitaffe mu mubiri, abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa. Kale tetulisingawo nnyo okugondera Kitaffe mu mwoyo, ne tuba balamu?

[10] Bakitaffe abo baatukangavvuliranga ekiseera kitono olw'ebyo bye baayagalanga. Kyokka Katonda atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tugabane ku butukuvu bwe.

[11] Bwe tuba tukangavvulwa, mu kiseera ekyo okukangavvulwa kufaanana ng'okutaleeta ssanyu wabula obulumi. Naye oluvannyuma, abo abagunjulwa okukangavvulwa okwo, bafuna eddembe n'obutuukirivu.

[12] Kale muyimuse emikono gyammwe egiragaya, munyweze amaviivi gammwe agajugumira.

[13] Mutambulirenga mu makubo amagolokofu, awenyera aleme kulemala, wabula awone.

[14] Mufubenga okuba n'emirembe mu bantu bonna, era mufubenga okuba n'obutukuvu, kubanga we butali tewali aliraba Mukama.

[15] Mwerinde, waleme kubaawo yeefiiriza kisa kya Katonda. Mwerinde, waleme kubaawo bubi busituka mu mmwe, ne bubatabulatabula, era ne bwonoona bangi.

[16] Mwerinde, waleme kubaawo mwenzi, oba alulunkanira eby'ensi nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'olulya olumu.

[17] Mumanyi nti oluvannyuma, bwe yayagala okufuna omukisa, tegwamuweebwa, kubanga teyafuna ngeri ya kujjulula kye yali akoze, newaakubadde yagusaba ng'akaaba.

[18] Temuzze ng'Abayisirayeli bwe bajja ku Lusozi Sinaayi lwe muyinza okukwatako, era olwaka omuliro. Era temuzze eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,

[19] n'okuvuga kw'eŋŋombe, n'eddoboozi ly'ebigambo, eryaleetera abaaliwulira okwegayirira baleme kweyongera kuliwulira.

[20] Tebaasobola kugumira kiragiro ekyabaweebwa, ekigamba nti: “Ne bw'eba nsolo n'etuuka ku lusozi, eteekwa okukubibwa amayinja efe!”

[21] Ddala ebyalabibwa byali bya ntiisa nnyo, Musa n'atuuka n'okugamba nti: “Ntidde nnyo, ne nkankana!”

[22] Naye mmwe muzze ku Lusozi Siyooni, era mu kibuga kya Katonda Nnannyinibulamu, Yerusaalemu eky'omu ggulu, bamalayika enkumi n'enkumi gye bakuŋŋaanidde.

[23] Muzze mu lukuŋŋaana olunene olw'abaggulanda abaawandiikibwa mu ggulu. Muzze eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatukuvu, abaatuukirizibwa.

[24] Muzze eri Yesu Omutabaganya ow'endagaano empya. Muzze eri omusaayi ogw'okumansira, ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abeeli.

[25] Mwerinde, muleme kugaana okussaayo omwoyo ku oyo ayogera. Abo abaagaana okuwulira eyabalabula ng'ali ku nsi, tebaawona, n'olwekyo ffe bwe tugaana okuwulira oyo atulabula ng'ali mu ggulu, tetulina we tuliwonera.

[26] Eddoboozi lye lyanyeenya ensi, naye kaakano yasuubiza nti: “Njija kuddamu okukankanya ensi, ku luno si nsi yokka, naye n'eggulu.”

[27] Okugamba nti “Njija kuddamu,” kitegeeza nti ebitonde ebinyeenyezebwa biriggyibwawo, olwo ebyo ebitanyeenyezebwa biryoke bisigalewo.

[28] Kale nga bwe tufuna obwakabaka obutanyeenyezebwa, twebazenga Katonda, era tumusinzenga nga bw'asiima, nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya,

[29] kubanga Katonda waffe, muliro, ayokya!

Ebbaluwa Eri Abeebureeyi — Chapters