Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:42

[1] Kale abooluganda era abantu ba Katonda, abaayitibwa okugabana ku bulamu obw'omu ggulu, mulowooze ku Yesu, Omutume era Ssaabakabona ow'eddiini gye tukkiriza.

[2] Yali mwesigwa eri Katonda eyamulonda okukola omulimu ogwo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.

[3] Naye ng'omuzimbi bw'aba n'ekitiibwa ekisinga eky'ennyumba gye yazimba, bw'atyo ne Yesu asaanira ekitiibwa ekisinga ekya Musa.

[4] Buli nnyumba ebaako eyagizimba. Naye eyazimba byonna ye Katonda.

[5] Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. Yali muweereza eyakakasa ebyo Katonda bye yali agenda okwogera.

[6] Kyokka Kristo mwesigwa ng'Omwana akulira ennyumba ya Katonda. Ffe nnyumba ya Katonda, kasita tusigala bulijjo nga tuli banywevu, nga tulina essuubi eryo lye tweyagaliramu.

[7] Kale nga Mwoyo Mutuukirivu bw'agamba: “Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,

[8] temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe baajeema ku lunaku lwe baakemerako Katonda mu ddungu.

[9] Eyo gye bankemera ne bangeza, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.

[10] Kyennava nsunguwalira abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Bulijjo baba bakyamu mu kulowooza kwabwe, tebamanyanga mateeka gange.’

[11] Nasunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ”

[12] Kale, abooluganda, mwegendereze, waleme kubaawo n'omu ku mmwe aba n'omutima omukakanyavu era ogutakkiriza, n'ava ku Katonda Nnannyinibulamu.

[13] Mu kifo ky'okuva ku Katonda, mubuuliriragane buli lunaku, nga “Olwaleero” lukyaliwo, waleme kubaawo n'omu ku mmwe obulimba bw'ekibi gwe bukakanyaza omutima,

[14] kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, kasita tunywereza ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, ne tubutuusa ku nkomerero.

[15] Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Olwaleero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe beewaggula ku Katonda.”

[16] Be baani abaawulira eddoboozi lya Katonda ne bamujeemera? Be bo bonna Musa be yakulembera n'abaggya mu Misiri.

[17] Era be baani Katonda be yasunguwalira okumala emyaka amakumi ana? Be bo abaayonoona, ne bafa, era emirambo gyabwe ne gisigala mu ddungu.

[18] Era be baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Be bo abaamujeemera.

[19] Kale tulaba nti baalemwa okuyingira lwa butakkiriza bwabwe.

Ebbaluwa Eri Abeebureeyi — Chapters