Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:08

[1] Buli ssaabakabona, alondebwa mu bantu n'ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe. Awaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda olw'ebibi byabwe.

[2] Asobola okukwata empola abo abatamanyi n'abawaba, kubanga naye yennyini munafu mu bintu bingi.

[3] Era olw'obunafu obwo, ateekwa okuwaayo ebitambiro olw'ebibi bye, nga bw'awaayo olw'ebibi by'abantu abalala.

[4] Tewali ayinza kwewa kitiibwa ekyo, okuggyako oyo Katonda gw'ayise, nga Arooni bwe yayitibwa.

[5] Bw'atyo ne Kristo teyeewa yekka kitiibwa kya bwa ssaabakabona, wabula kyamuweebwa Katonda eyamugamba nti: “Oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde.”

[6] Era awalala Katonda agamba nti: “Ggwe oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Melikizeddeki.”

[7] Yesu mu bulamu bwe obw'oku nsi, mu ddoboozi ery'omwanguka ne mu maziga, yeegayirira era n'asaba Katonda eyalina obuyinza okumuwonya okufa. Era yawulirwa, kubanga yassangamu Katonda ekitiibwa.

[8] Newaakubadde nga yali Mwana wa Katonda, yayiga obuwulize, ng'abuyigira mu ebyo bye yabonaabonamu.

[9] Bwe yamala okutuukirira, n'afuuka ensulo y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera,

[10] era Katonda n'amufuula Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki.

[11] Tulina bingi eby'okwogera ku ekyo, era ebizibu okubannyonnyola, kubanga muteegera mpola.

[12] Kuba newaakubadde nga kaakano mwandibadde muli bayigiriza, naye era mukyetaaga ow'okubayigiriza ebisookerwako mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Era mukyasaanira mata, sso si mmere nkalubo.

[13] Buli akyasaanira amata, aba akyali mwana muto, atayawula kituufu na kikyamu.

[14] Naye emmere enkalubo ya bantu bakulu, abamaze okuyiga ne bamanya okwawula ekirungi n'ekibi.

Ebbaluwa Eri Abeebureeyi — Chapters