Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:30

[1] Abo bonna abali mu kikoligo ky'obuddu, basaana okussaamu ennyo bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda era n'okukkiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa.

[2] Abaddu abo abalina bakama baabwe abakkiriza, tebabanyoomanga olw'okuba baganda baabwe. Wabula beeyongere bweyongezi okubaweereza obulungi, kubanga abo abagasibwa olw'okuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Ebyo bibayigirizenga era obibakuutirenga.

[3] Buli muntu ayigiriza mu ngeri endala, nga takkiriziganya n'ebigambo ebituufu ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'enjigiriza etabagana n'okussaamu Katonda ekitiibwa,

[4] aba ajjudde akazoole k'okubuuzabuuza ku buli kintu n'okuwakana ku buli kigambo, ebivaamu obuggya, okuyomba, okuvuma, okuwaayira,

[5] n'okukaayana. Ebyo byonna bikolebwa bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina mazima, abalowooza nti okussaamu Katonda ekitiibwa kuba kwenoonyeza bya bugagga.

[6] Weewaawo okussaamu Katonda ekitiibwa kulimu obugagga bungi, singa omuntu amatira mu ebyo by'alina,

[7] kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetulina kye tuliggyamu nga tugivaamu.

[8] Naye bwe tuba n'emmere n'ebyokwambala, ebyo bitumalenga.

[9] Abo abaagala okugaggawala, bagwa mu kukemebwa, ne bakwatibwa okwegomba okungi okw'obusirusiru, era okw'akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira,

[10] kubanga okululunkanira ensimbi, ye nsibuko y'ebibi byonna. Olw'okululunkana okwo, abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

[11] Naye ggwe omuntu wa Katonda, weewalenga ebyo byonna, ogobererenga obutuukirivu, okussaamu Katonda ekitiibwa, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuteefu.

[12] Lwana bulungi olutalo olw'okukkiriza, olyoke ofune obulamu obutaggwaawo Katonda bwe yakuyitira, n'oyatulira ddala okukkiriza kwo, mu maaso g'abajulirwa abangi.

[13] Nkukuutirira mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Yesu Kristo eyayatulira ddala amazima mu maaso ga Pontiyo Pilaato,

[14] okuumenga kye nakulagira, oleme okubaako akamogo, wadde ky'onenyezebwamu, okutuusiza ddala Mukama waffe Yesu Kristo lw'alirabika.

[15] Okujja kwe okwo, Katonda atenderezebwa era nnannyini buyinza, kabaka wa bakabaka era mukama w'abakama, alikuleeta mu kiseera kyakwo ekituufu.

[16] Ye yekka atafa era abeera mu kitangaala ekitasemberekeka, tewali yali amulabye, era tewali ayinza kumulaba. Ye weekitiibwa era ye w'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.

[17] Labula abagagga ab'oku nsi kuno, baleme kwegulumiza, wadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna ebitusanyusa.

[18] Basaanye okukola obulungi, balyoke babe bagagga mu birungi bye bakola, era babe ba kisa era abagabi.

[19] Bwe batyo beeterekere obugagga obulibagasa mu biseera ebirijja, ne bubafunyisa obulamu obwannamaddala.

[20] Timoteewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga emboozi ezitassaamu Katonda kitiibwa, n'empaka ez'obusirusiru, abo abeerimba ze bayita ez'amagezi.

[21] Abamu abagamba nti bagalina, bakyama ne bava mu kukkiriza. Katonda abakwatirwe mmwe ekisa.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Timoteewo — Chapters