Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:25

[1] Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu okusinziira ku kiragiro kya Katonda Omulokozi waffe, ne Kristo Yesu essuubi lyaffe,

[2] nkuwandiikira ggwe Timoteewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.

[3] Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakusaba nga ŋŋenda e Makedooniya, oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala.

[4] Bagambe balekere awo okwemaliranga ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez'amannya g'abajjajjaabwe. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky'okuyigiriza abantu ebya Katonda, ebiri mu kukkiriza.

[5] Ekigendererwa mu kiragiro kino kwe kwagala, okusibuka mu mutima omulongoofu, n'omwoyo omulungi, n'okukkiriza okutaliimu bukuusa.

[6] Ebyo abantu abamu babivaako, ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso.

[7] Beefuula abayigiriza b'amateeka ga Katonda, sso nga tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.

[8] Tumanyi ng'Amateeka malungi, omuntu bw'agakozesa mu ngeri entuufu.

[9] Tusaanye tutegeere nti amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo abo abagamenya n'abajeemu, aboonoonyi n'abatatya Katonda, abatali batuukirivu, n'abavvoola ebya Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n'abatta abantu abalala.

[10] Gaateekerwawo abenzi n'abalya ebisiyaga, ababuzaawo abantu, abalimba, n'abalayirira obwereere, n'abo bonna abakola ebitakkiriziganya na njigiriza ntuufu.

[11] Enjigiriza eyo entuufu ye yiiyo ekkiriziganya n'Amawulire Amalungi, era ageekitiibwa, aga Katonda atenderezebwa, agankwasibwa.

[12] Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe, eyampa amaanyi ag'okumuweereza, era eyalaba nga nsaanira, n'ankwasa omulimu gwe.

[13] Newaakubadde ng'edda namwogerako bubi, ne mmuyigganya, era ne mmuvoola, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya, nga sinnaba kumukkiriza.

[14] Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nnyo, n'ampa okukkiriza, era n'okwagala, bye tufunira mu Kristo Yesu.

[15] Ekigambo kino kituufu ddala, kisaanye okukkiriza ekigamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.” Mu bo nze nsingira ddala okuba omwonoonyi.

[16] Kyokka Katonda yankwatirwa ekisa: mu nze asingira ddala okuba omwonoonyi, Kristo Yesu mw'aba alagira okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbe ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza, ne bafuna obulamu obutaggwaawo.

[17] Kabaka ow'olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga era aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.

[18] Mwana wange Timoteewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo by'abalanzi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n'obuzira,

[19] ng'okukkiriza era n'omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo, kubanga abalala abagaana okuba n'omwoyo ogwo omulungi, bafiirwa okukkiriza kwabwe.

[20] Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Alekizanda be nawaayo eri Sitaani balekere awo okuvumanga Katonda.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Timoteewo — Chapters