[1] Nze Pawulo, Katonda gwe yasiima okuba omutume wa Kristo Yesu, n'okutegeeza abantu ebifa ku bulamu obwatusuubizibwa, bwe tufunira mu Kristo Yesu,
[2] mpandiikira ggwe omwana wange omwagalwa Timoteewo. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.
[3] Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi, nga bajjajjange bwe baakola. Bulijjo mmwebaza bwe nkujjukira nga mmwegayirira emisana n'ekiro.
[4] Bwe nzijukira amaziga ge wakaaba, neegomba okukulaba, ndyoke njijule essanyu.
[5] Nzijukira okukkiriza kwo okw'amazima, era ne jjajjaawo Looyi ne nnyoko Ewuniike kwe baalina, era kaakati nkakasa nti naawe okulina,
[6] kyenva nkujjukiza okuseesanga omuliro gw'ekirabo ekiri mu ggwe, Katonda kye yakuwa bwe nakussaako emikono gyange.
[7] Mwoyo Katonda gwe yatuwa, tatufuula bati, wabula atujjuza amaanyi, n'okwagala n'okwegenderezanga.
[8] N'olwekyo tokwatibwanga nsonyi okwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we; wabula naawe bonaabona olw'Amawulire Amalungi, ng'oyambibwa amaanyi ga Katonda,
[9] eyatulokola, n'atuyita tube ababe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku ebyo bye twakola, wabula ng'asinziira ku kuteesa kwe ne ku kisa kye, kye yatukwatirwa ng'ayita mu Yesu Kristo okuva edda n'edda lyonna.
[10] Kaakano ekisa ekyo kitegeereddwa mu kulabika kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa, n'aleeta obulamu obutaggwaawo, ng'ayita mu Mawulire Amalungi.
[11] Katonda yannonda ntegeeze abantu Amawulire Amalungi ng'omutume we era omuyigiriza,
[12] era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa, okutuusa ku lunaku luli.
[13] Gobereranga ebigambo eby'amazima bye wawulira njogera, era nywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, bye tulina nga tuli mu Kristo Yesu.
[14] Ekirungi eky'omuwendo kye wateresebwa kikuumenga, ng'oyambibwa Mwoyo Mutuukirivu abeera mu ffe.
[15] Omanyi nti ab'omu Asiya bonna banjabulira. Mu abo mwe muli Fugelo ne Erumogene.
[16] Mukama akwatirwe ekisa ab'omu maka ga Onesiforo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi, era teyakwatibwa nsonyi olw'okubanga ndi musibe.
[17] Bwe yatuuka e Rooma, yafuba nnyo okunnoonya, era n'anzuula.
[18] Bw'alituuka mu maaso ga Mukama ku lunaku luli, Mukama amukwatirwe ekisa. Era ggwe omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.