[1] Toboggoleranga musajja mukadde, wabula mubuulirirenga nga kitaawo. Abavubuka babuulirirenga nga baganda bo, abakazi abakadde babuulirirenga nga bazadde bo,
[2] n'abakazi abato babuulirirenga nga bannyoko, ng'omutima gwo mutukuvu ddala.
[3] Bannamwandu, abayisa nga bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa.
[4] Nnamwandu bw'abanga n'abaana oba abazzukulu, basookenga okuyiga okutuukirizanga ebyo bye bateekwa okukolera ab'omu maka g'ewaabwe, bwe batyo babeeko kye basasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kisanyusa Katonda.
[5] Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, aba yeetadde mu mikono gya Katonda, era anyiikira okwegayirira n'okusaba Katonda emisana n'ekiro.
[6] Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba afudde, newaakubadde ng'akyali mulamu.
[7] Ebyo bibalagire, baleme kubaako kye banenyezebwamu.
[8] Kyokka oyo atafa ku babe, naddala ab'omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
[9] Nnamwandu atannaweza myaka nkaaga, tomuwandiikanga mu bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu.
[10] Nnamwandu oyo ateekwa okuba nga yakolanga ebikolwa ebirungi: ng'okukuza obulungi abaana be, nga yayanirizanga abagenyi, nga yanaazanga ebigere by'abantu ba Katonda, nga yayambanga abali mu buzibu, era nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
[11] Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga kubawandiika mu lubu lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa.
[12] Bwe batyo ne bessaako omusango olw'obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza.
[13] N'ekirala, bayiga okwonoona ebiseera byabwe nga batambula okubuna amayumba. Si bagayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe, ne boogera n'ebitasaanira kwogera.
[14] Kyenva njagala bannamwandu abakyali abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako bubi,
[15] kubanga bannamwandu abamu bakyamye, ne bagoberera Sitaani.
[16] Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab'olulyo lwe, ye aba abalabiriranga, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kireme kuzitoowererwa, kiryoke kisobole okulabiriranga bannamwandu abataliiko abayamba.
[17] Abakulembeze b'abakkiriza, abafuga obulungi, basaanira empeera nnene, naddala abo abafaabiina mu kutegeeza n'okuyigiriza abantu ekigambo kya Katonda,
[18] kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ente ng'ewuula eŋŋaano, togisibangako mumwa.” Era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.”
[19] Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze, okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu.
[20] Kyokka abo aboonoona, banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye.
[21] Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu ne bamalayika abatukuvu, okugobereranga ebyo bulijjo, nga teweekubiira, wadde okusaliriza.
[22] Toyanguyirizanga kussaako mikono gyo ku muntu n'omu. Teweetabanga mu bibi bya balala. Weekuume obeerenga mulongoofu.
[23] Lekera awo okunywanga amazzi gokka, naye nywangako ne ku twenge tw'emizabbibu olw'olubuto lwo, n'olw'okulwalalwala kwo.
[24] Ebibi by'abantu abamu birabika mu lwatu, nga tebannasalirwa musango, kyokka eby'abalala birabika luvannyuma.
[25] N'ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo, birabika mu lwatu. Ne bwe biba nga tebirabise mu lwatu, tebirirema kulabika.