[1] Mwoyo Mutuukirivu ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasuula okukkiriza, ne bagoberera emyoyo egiwubisa, era ne bagoberera enjigiriza za Sitaani,
[2] nga bawubisibwa obukuusa bw'abantu abalimba, ab'emitima egiri ng'egyasiriizibwa ekyuma ekyengereredde.
[3] Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era ababagaana okulya ebyokulya ebimu, Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
[4] Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, era tewali kizira, kasita kiriirwa mu kumwebaza,
[5] kubanga kitukuzibwa n'ekigambo kya Katonda era n'okumusinza.
[6] Bw'onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'oliisibwa n'ebigambo eby'amazima eby'okukkiriza, n'enjigiriza ennungi gye wagoberera.
[7] Naye enfumo ezitaliimu ddiini, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiize okussangamu Katonda ekitiibwa,
[8] kubanga okwemanyiiza mu by'omubiri kugasa katono, naye okussaamu Katonda ekitiibwa kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery'omu bulamu buno, era n'ery'obwo obugenda okujja.
[9] Ekigambo ekyo kituufu era kisaana okukkiririza ddala.
[10] Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda Nnannyinibulamu Omulokozi w'abantu bonna, na ddala ow'abo abakkiriza.
[11] Abantu balagirenga ebyo, era obibayigirizenga.
[12] Waleme kubaawo akunyooma olw'obuvubuka bwo, wabula mu kwogera ne mu mpisa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu butukuvu, beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
[13] Nyiikiriranga okusoma ebyawandiikibwa, n'okubuulirira abantu ebya Katonda, n'okubayigiriza okutuusa lwe ndijja.
[14] Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe kye waweebwa, abantu abakulu bwe baakussaako emikono gyabwe, ng'abalanzi bwe baayogera.
[15] Ebyo birowoozenga era obissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi.
[16] Ebyo binywerereko, nga weekuuma mu mpisa zo, ne mu by'oyigiriza, kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola ggwe wennyini, era n'abo abakuwulira.