[1] Okusookera ddala, mbasaba muwanjagenga, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw'abantu bonna.
[2] Era musabirenga bakabaka, n'abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi, nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
[3] Ekyo kye kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe,
[4] ayagala abantu bonna balokolebwe, era bamanye amazima.
[5] Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w'abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu,
[6] eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.
[7] Era nze kye nateekerwawo mbe omutume era omuyigiriza w'ab'amawanga amalala, mbategeeze eby'okukkiriza n'eby'amazima. Njogera mazima, sirimba.
[8] N'olwekyo njagala abasajja, buli wantu beegayirirenga Katonda, nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
[9] Era njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, na mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, wadde okwambala engoye ez'omuwendo ennyo,
[10] wabula bakole ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
[11] Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga, nga yeewombeese.
[12] Sikkiriza mukazi kuyigiriza, wadde okuba n'obuyinza ku musajja, wabula asaana asirike,
[13] kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Haawa.
[14] Era Adamu si ye yalimbibwalimbibwa, wabula omukazi ye yalimbibwalimbibwa, n'agwa mu kibi.
[15] Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala, kasita anaanywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, ne mu butuukirivu, ne mu kwegendereza.