[1] Kituufu nti: “Buli muntu ayagala okuba omulabirizi, aba yeegombye omulimu mulungi.”
[2] Omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu. Ateekwa okuba n'omukazi omu yekka. Ateekwa okuba nga yeefuga, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng'amanyi okuyigiriza.
[3] Ateekwa okuba nga si mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula abe nga muwombeefu, nga si muyombi, era nga talulunkanira byakufuna.
[4] Ateekwa okuba ng'afuga bulungi amaka ge, n'abaana be nga bawulize, era nga ba mpisa.
[5] Kale omuntu atasobola kufuga maka ge, asobola atya okulabirira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo?
[6] Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, sikulwa nga yeekulumbaza, n'asalirwa omusango, nga Sitaani bwe yagusalirwa.
[7] Ateekwa okuba ng'assibwamu ekitiibwa abo abatali ba mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, aleme kubaako ky'anenyezebwamu, era aleme kugwa mu mutego gwa Sitaani.
[8] Abadyakoni nabo basaana okuba abantu abassibwamu ekitiibwa, aboogera amazima, abatanywa mwenge mungi, era abatalulunkanira bya kufuna.
[9] Basaana okukuuma ekyama ky'okukkiriza mu mwoyo omulungi.
[10] Era basookenga kugezebwa, balyoke baweereze nga tebalina kye banenyezebwamu.
[11] N'abakazi bwe batyo, nabo basaana okuba abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kimu.
[12] Omudyakoni ateekwa okuba n'omukazi omu yekka, era ng'asobola okufuga obulungi abaana be, n'amaka ge,
[13] kubanga ababa bakoze obulungi mu budyakoni, bafuna ekifo ekya waggulu, era baba n'obuvumu bungi mu kukkiriza kwabwe mu Kristo Yesu.
[14] Nsuubira okujja amangu gy'oli. Kyokka bino mbikuwandiikira,
[15] ne bwe ndirwa, omanye bw'osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, kye kibiina ky'abakkiriza Katonda Nnannyinibulamu, empagi era omusingi gw'amazima.
[16] Tewali kubuusabuusa, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, ekigamba nti: “Yalabika nga muntu ddala, n'akakasibwa Mwoyo Mutuukirivu. Yalabibwa bamalayika, n'amanyisibwa mu mawanga. Yakkirizibwa ab'omu nsi, n'atwalibwa waggulu mu kitiibwa.”