Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:22

[1] Eky'enkomerero, abooluganda, mutusabire, ekigambo kya Mukama kiryoke kyeyongere okubuna amangu, era kiweebwe ekitiibwa, nga bwe kyali mu mmwe.

[2] Era mutusabire, tuwone abantu aboonoonyi era ababi, kubanga okukkiriza si kwa bonna.

[3] Kyokka Mukama waffe mwesigwa. Alibawa amaanyi mmwe, era alibawonya Omubi.

[4] Tubeesiga, kubanga muli ba Mukama, ne tukakasa nti mukola era munaakolanga ebyo bye twabalagira.

[5] Mukama aluŋŋamye emitima gyammwe mu kwagala kwa Katonda n'okugumiikiriza kwa Kristo.

[6] Kale baganda bange, tubalagira mu linnya lya Mukama Yesu Kristo: mwewale abooluganda abagayaavu, era abatagoberera ebyo bye twabayigiriza mmwe.

[7] Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti musaanidde okukola nga ffe bwe twakolanga. Bwe twali nammwe, tetwali bagayaavu.

[8] Tetwalyanga mmere ya bwereere, wabula twakolanga nnyo, nga tufuba emisana n'ekiro, tuleme okukaluubirira wadde omu ku mmwe.

[9] Tetugamba nti tekyanditugwanidde, wabula twayagala kubawa kyakulabirako, namwe mukolenga nga ffe.

[10] Ne bwe twali nga tukyali wamu nammwe, twabalagira nti: “Agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.”

[11] Twawulira nti abamu mu mmwe bagayaavu, tebakola mirimu, wabula okweyingiza mu bya bannaabwe.

[12] Ab'engeri eyo tubalagira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, bakolenga emirimu nga bakkakkamu, bafune kye balya.

[13] Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi.

[14] Bwe wabangawo agaana okugoberera kye tugamba mu bbaluwa eno, mumugenderere, era muleme kukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi.

[15] Kyokka temumuyisa ng'omulabe, wabula mumulabule nga muganda wammwe.

[16] Kale Mukama waffe yennyini, nnannyini mirembe, abawenga emirembe bulijjo, buli we mubeera. Mukama abeerenga namwe mmwenna.

[17] Nze Pawulo, okulamusa kuno nze nkuwandiise ne nteekako omukono. Ako ke kabonero akalaga buli bbaluwa gye mba mpandiise. Bwe ntyo bwe mpandiika.

[18] Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna.

Ebbaluwa Eyookubiri Pawulo Gye Yawandiikira Abatessalonika — Chapters