Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:20

[1] Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.

[2] Mugumiikirizaganenga, kubanga bwe mukola bwe mutyo, muba mutuukirizza etteeka lya Kristo.

[3] Omuntu bwe yeerowooza ng'aliko bw'ali, sso nga taliiko bw'ali, aba yeerimbalimba.

[4] Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala,

[5] kubanga buli omu alyetikka mugugu gwe.

[6] Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, atoole ku bibye by'alina, aweeko amuyigiriza.

[7] Temulimbibwanga, Katonda tabuzaabuzibwa: omuntu ky'asiga era ky'alikungula.

[8] Asiga mu mubiri gwe, mu mubiri mw'alikungula okufa. Kyokka oyo asiga mu Mwoyo, mu Myoyo mw'alikungula obulamu obutaggwaawo.

[9] Kale tuleme okukoowa mu kukolanga obulungi, kubanga bwe tutaddirira, ekiseera kirituuka ne tukungula.

[10] Kale nga bwe tulina ebbanga, tukolerenga abantu bonna ebirungi, naddala abo bwe tuli awamu mu kukkiriza.

[11] Mulabe bwe mbawandiikidde n'omukono gwange mu nnukuta ennene.

[12] Abo abaagala okwenyumiririza mu byokungulu, be baagala okubawaliriza okukomolebwa. Bakikola balyoke baleme kuyigganyizibwa olw'omusaalaba gwa Kristo.

[13] N'abo abakomolebwa, tebagoberera ebyo Amateeka bye galagira, wabula baagala mukomolebwe, bo balyoke beenyumirize olw'okukomolebwa kwammwe.

[14] Nze sigenda kwenyumiriza n'akatono, okuggyako okwenyumiririza mu musaalaba gwa Kristo. Olw'omusaalaba ogwo, ensi ngiraba ng'ekomereddwa, nayo endaba ng'omukomerere.

[15] Oba ng'omuntu akomolebwa oba takomolebwa, ekyo si nsonga, wabula ekyetaagibwa kwe kufuuka ekitonde ekiggya.

[16] Emirembe n'okusaasira bibeerenga ku bantu ba Katonda, abo bonna abagoberera ekiragiro kino.

[17] Okuva kaakano tewabanga muntu n'omu anteganya, kubanga enkovu ze nnina ku mubiri gwange za Yesu,

[18] Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe, abooluganda. Amiina.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abagalatiya — Chapters