[1] Mmwe ab'e Galatiya ababuyabuya, ani yabaloga? Mwannyonnyolwa bulungi, ne mulaba Yesu Kristo nga bwe yakomererwa ku musaalaba.
[2] Kino kyokka kye njagala muntegeeze: mwafuna Mwoyo Mutuukirivu lwa kubanga mwatuukiriza ebyo Amateeka bwe galagira, oba lwa kuwulira na kukkiriza Amawulire Amalungi?
[3] Bwe mutyo temulina magezi? Mmwe abaatandika n'amaanyi aga Mwoyo Mutuukirivu, ate kaakano mwagala mumalirize n'amaanyi agammwe ku bwammwe?
[4] Ebyo bye mwabonaabonamu bya bwereere? Ddala si bya bwereere.
[5] Katonda abawa Mwoyo we, era akola ebyamagero mu mmwe, lwa kubanga mutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, oba lwa kubanga mwawulira ne mukkiriza Amawulire Amalungi?
[6] Mulowooze ku byatuuka ku jjajjaffe Aburahamu. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
[7] Kale mutegeere nti abalina okukkiriza, be bazzukulu ba Aburahamu.
[8] Olw'okulengera ebiri mu maaso nti Katonda aliwa ab'amawanga amalala obutuukirivu olw'okukkiriza kwabwe, ekyawandiikibwa kyekyava kitegeeza edda Aburahamu Amawulire Amalungi nti: “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”
[9] Bwe kityo abo bonna abalina okukkiriza, baweebwa omukisa nga Aburahamu eyalina okukkiriza bwe yaguweebwa.
[10] Abo abeesigama ku kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, bakolimiddwa, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli ataatuukirizenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Amateeka, akolimiddwa.”
[11] Kimanyiddwa nti tewali n'omu aba mutuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga, “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”
[12] Naye Amateeka, go tegeesigama ku kukkiriza. Kale, ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, anaabanga mulamu mu go.”
[13] Naye ffe Kristo yatununula, n'atuggya mu kikoligo ekireetebwa Amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli awanikibwa ku muti, akolimiddwa.”
[14] Kristo yessaako ekikolimo ekyo, omukisa Katonda gwe yasuubiza Aburahamu gulyoke guweebwe n'ab'amawanga amalala olwa Kristo Yesu, era olw'okukkiriza, tulyoke tufune Mwoyo Mutuukirivu eyasuubizibwa.
[15] Abooluganda, ne mu nkola ey'abantu eya bulijjo, omuntu bw'amala okukola endagaano n'enywera, tewali n'omu akkirizibwa kugiggyawo oba okugyongerako.
[16] Ebyo ebyasuubizibwa, byasuubizibwa Aburahamu ne muzzukulu we. Ekyawandiikibwa tekigamba nti: “Ne bazzukulu be,” ng'abangi, wabula kigamba nti “Ne muzzukulu we,” ng'ali omu, ye Kristo.
[17] Kye ŋŋamba kye kino nti Amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu, tegaggyaawo ndagaano eyanywezebwa Katonda, era tegadibya ekyasuubizibwa.
[18] Kale oba nga Katonda ky'awa kyesigama ku Mateeka, olwo kiba tekikyesigamye ku kusuubiza kwe; naye Katonda yakiwa Aburahamu kubanga yakimusuubiza.
[19] Kale Amateeka gaateekebwawo lwaki? Gaateekebwawo, okwonoona kulyoke kumanyike, era gaali ga kubeerawo okutuusa ku kujja kwa muzzukulu wa Aburahamu eyasuubizibwa. Go Amateeka gaaleetebwa bamalayika, nga gayita ku mutabaganya.
[20] Kyokka omutabaganya abaawo nga waliwo enjuyi bbiri. Naye Katonda ali omu.
[21] Kale Amateeka galwanagana n'ebyo Katonda bye yasuubiza? Nedda, tekisoboka. Singa gaateekebwawo nga ge gayinza okuleeta obulamu, olwo abantu bandibadde batuukirivu olw'okutuukiriza ebyo bye galagira.
[22] Naye ekyawandiikibwa kigamba nti ekibi kifuga byonna, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abo abakkiriza, nga kibaweebwa olw'okukkiriza Yesu Kristo.
[23] Okukkiriza bwe kwali tekunnajja, Amateeka gaatukuumanga nga tuli basibe, okutuusa okukkiriza lwe kwalagibwa.
[24] Kale Amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo lwe yajja, tulyoke tube batuukirivu olw'okukkiriza.
[25] Naye kaakano okukkiriza nga bwe kwajja, tetukyafugibwa mukuumi.
[26] Olw'okukkiriza, mwenna muli baana ba Katonda mu Kristo Yesu,
[27] kubanga mmwe mwenna ababatizibwa mu Kristo, mwayambala Kristo.
[28] Tewakyali njawulo wakati w'Omuyudaaya n'ow'eggwanga eddala, wakati w'omuddu n'ow'eddembe, wakati w'omusajja n'omukazi. Mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
[29] Kale nga bwe muli aba Kristo, muli bazzukulu ba Aburahamu, era mulifuna ekyo Katonda kye yasuubiza.