Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:23

[1] Kristo yatufuula ba ddembe. Kale munywere, muleme okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.

[2] Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwa, kitegeeza nti Kristo taliiko ky'abagasa.

[3] Era ntegeeza buli muntu akomolebwa nti ateekwa okutuukiriza ebyo byonna Amateeka bye galagira.

[4] Mmwe abaagala okuba abatuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, mwesaze ku Kristo, era mweggye ku kisa kya Katonda.

[5] Naye ffe tusuubira nti Katonda alitufuula abatuukirivu, era ekyo kye tulindirira olw'amaanyi ga Mwoyo wa Katonda akolera mu kukkiriza kwaffe.

[6] Bwe tuba nga twegasse ne Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekiriiko kye kifuula. Ekikulu kwe kukkiriza, okukolera mu kwagala.

[7] Mwali bulungi. Ani eyabaziyiza okugondera amazima?

[8] Okusendasenda okwo, si kwa Katonda abayita.

[9] Ekizimbulukusa ekitono, kizimbulukusa ekitole kyonna.

[10] Naye neesiga Mukama nti mujja kulowooza nga nze, era nti oyo abateganya ne bw'aba ani, alibonerezebwa.

[11] Naye nze, abooluganda, oba nga nkyayigiriza abantu nti okukomolebwa kwetaagibwa, lwaki nkyayigganyizibwa? Singa ddala njigiriza ekyo, olwo omusaalaba guba tegukyali kyesittazo.

[12] Nandyagadde abo ababateganya beeraawe!

[13] Abooluganda, mmwe mwayitibwa kuba ba ddembe. Kyokka muleme kufugibwa kwegomba kwa mubiri, nga mwesiga eddembe eryo, wabula mwagalanenga, era buli omu abeerenga muweereza wa munne.

[14] Amateeka gonna gatuukirizibwa mu kiragiro kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”

[15] Naye oba nga mulumagana era mulyaŋŋana, mwekuume, sikulwa nga mwezikiriza.

[16] Naye ŋŋamba nti mugobererenga Mwoyo, lwe mutaatuukirizenga ebyo omubiri bye gwegomba.

[17] Ebyo omubiri bye gwegomba birwanagana n'ebyo Mwoyo by'ayagala. Ate ebyo Mwoyo by'ayagala, birwanagana n'ebyo omubiri bye gwegomba. N'ekivaamu, ne mutasobola kukola ebyo bye mwagala.

[18] Naye bwe munaagobereranga Mwoyo, olwo nga temukyafugibwa Mateeka.

[19] Ebikolwa by'omubiri bimanyiddwa bulungi, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu,

[20] okusinza ebitali Katonda, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, obutakkaanya, okwesalamu,

[21] ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebirala ebiri ng'ebyo. Ne kaakano nnyongera okubalabula, nga bwe nabalabula okusooka, nti abo abakola ebifaanana ng'ebyo, tebaliba na mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.

[22] Naye Mwoyo aleeta kwagala, kusanyuka, mirembe, kugumiikiriza, kisa, bulungi, bwesigwa,

[23] buwombeefu, na kwegendereza. Ebyo tebiriiko tteeka libiwakanya.

[24] Era abo aba Kristo Yesu, baakomerera ku musaalaba omubiri gwabwe n'omululu gwagwo, n'okwegomba kwagwo.

[25] Oba nga Mwoyo ye atuwa obulamu, Mwoyo ye abanga atufuga.

[26] Tulemenga okwenyumiriza, wadde buli omu okusosonkereza munne, n'okumukwatirwa obuggya.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abagalatiya — Chapters