Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:11

[1] Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, mpandiikira abantu ba Katonda abali mu Efeso, era abeesigwa mu Kristo Yesu.

[2] Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.

[3] Ka twebaze Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa oguva mu ggulu, ogugasa omwoyo.

[4] Katonda, ng'ayita mu Kristo yali yamala dda okutulonda nga n'ensi tennatondebwa, tube batukuvu, era abataliiko kamogo mu maaso ge. Olw'okutwagala,

[5] yatufuula baana be, ng'ayita mu Yesu Kristo, nga bwe yateesa mu kusiima kwe,

[6] tulyoke tumutendereze olw'ekirabo kye ekyekitiibwa, kye yatuweera mu Mwana we omwagalwa.

[7] Olw'okufa kwa Kristo, tununulibwa ne tusonyiyibwa ebibi byaffe olw'ekisa kya Katonda ekingi ennyo

[8] kye yatukwatirwa. Katonda mu magezi ge ne mu kutegeera kwe,

[9] yatumanyisa ekyama eky'okwagala kwe, kye yali yategeka edda okutuukiriza mu Kristo.

[10] Entegeka ye gy'alituukiriza ng'ekiseera kyayo kituuse, kwe kugatta awamu mu Kristo ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, Kristo abe omutwe gwabyo.

[11] Mu Kristo mwe twalonderwa ne twawulibwa okuba abantu ba Katonda, kubanga eyo ye yali entegeka ya Katonda akola byonna nga bw'asiima,

[12] ffe abaasooka okuba n'essuubi mu Kristo, tulyoke tutendereze ekitiibwa kya Katonda.

[13] Era mu Kristo nammwe mwawulira ebigambo eby'amazima, ge Mawulire Amalungi ag'okulokolebwa kwammwe. Mwakkiriza Kristo, era ekiraga nti muli babe, Katonda yabassaako akabonero, ng'abawa Mwoyo Mutuukirivu gwe yasuubiza.

[14] Mwoyo Mutuukirivu oyo ye atukakasa nti Katonda bw'alimala okununula abantu be, tulifuna ebyo Katonda bye yatusuubiza, tutendereze ekitiibwa kye.

[15] N'olwekyo, okuva lwe nawulira nti mukkirizza Mukama Yesu, era nti mwagala abantu ba Katonda bonna,

[16] sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira

[17] ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe oweekitiibwa, abawe Mwoyo Mutuukirivu abageziwaze, era abamanyise Katonda, mumutegeere.

[18] Nsaba, emyoyo gyammwe gyeyongere amagezi, mumanye ebyo Katonda bye yabasuubiza bwe mwayitibwa, era mumanye n'obugagga obungi, abantu be bwe bafuna.

[19] Era nsaba mumanye amaanyi ge amasukkirivu, agakolera mu ffe. Amaanyi ago,

[20] geego gennyini agaazuukiza Kristo, ne gamutuuza mu ggulu, ng'aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo,

[21] n'afuga abafuzi n'ab'obuyinza, n'ab'amaanyi, era n'abakungu bonna, si mu bulamu buno bwokka, naye ne mu obwo obugenda okujja.

[22] Katonda yassa ebintu byonna mu buyinza bwa Kristo, n'amufuula omukulembeze ow'oku ntikko ow'ekibiina ky'abamukkiriza.

[23] Ekibiina ekyo gwe mubiri gwa Kristo ogumufuula atuukiridde, ye yennyini atuukiriza byonna wonna.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abeefeso — Chapters