[1] Naye ŋŋamba nti omusika bw'aba ng'akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga byonna ye nnyinibyo.
[2] Aba mu mikono gya bakuza be, okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira lwe kiggwaako.
[3] Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato mu by'omwoyo, twali baddu abafugibwa emisambwa egy'oku nsi kuno.
[4] Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we n'azaalibwa omukazi, era n'afugibwa Amateeka
[5] anunule abo abafugibwa Amateeka, tulyoke tufuuke abaana ba Katonda.
[6] Era olw'okuba abaana ba Katonda, Katonda kyeyava atuma Mwoyo w'Omwana we, mu mitima gyaffe. Mwoyo oyo akoowoola nti: “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”!
[7] Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana, era oba ng'oli mwana, Katonda alikuwa ebyo by'awa abaana be.
[8] Edda mwali temumanyi Katonda, n'olwekyo mwali baddu b'ebyo ebitali Katonda.
[9] Naye kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga bwe mumanyiddwa Katonda, muyinza mutya okuddayo emabega eri obuyinza bw'emisambwa eminafu era egitagasa? Era mwagala giddemu okubafuga?
[10] Mukuza ennaku, n'emyezi, n'ebiro, era n'emyaka.
[11] Ntya nti sikulwa ng'okutegana kwange mu mmwe kufa bwereere.
[12] Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange nafuuka nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola.
[13] Mumanyi nga nze okulwala kye kyanfunyisa omukisa ne mbategeeza mmwe Amawulire Amalungi omulundi ogwasooka.
[14] Era newaakubadde nga nabakaluubirira olw'obulwadde bwange, naye temwannyooma, wadde okunneekanasa, wabula mwannyaniriza nga bwe mwandyanirizza malayika wa Katonda, nga bwe mwandyanirizza Kristo Yesu.
[15] Kale essanyu lyammwe eryo lyadda wa? Nze kennyini nnyinza n'okuboogerako nti singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugampa.
[16] Kaakano nfuuse mulabe wammwe olw'okubategeeza amazima?
[17] Abo abalabika ng'ababalumirwa, ebigendererwa byabwe si birungi. Kye baagala kwe kubaggya ku nze, mudde ku luuyi lwabwe.
[18] Naye kirungi okulumirwa abantu, bwe kiba ng'ekigendererwa kirungi. Ekyo kya mazima bulijjo, sso si lwe mba nammwe lwokka.
[19] Baana bange abaagalwa, ng'omukazi bw'alumwa ng'azaala, nange bwe nnumwa bwe ntyo ku lwammwe, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe.
[20] Singa ndi nammwe kaakano, nandimanye kye nsaanye okwogera, kubanga ndi mweraliikirivu nnyo ku lwammwe.
[21] Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa Amateeka. Temuwulira Mateeka kye gagamba?
[22] Kyawandiikibwa nti Aburahamu yalina abaana babiri: omu yamuzaala mu muzaana, omulala mu wa ddembe.
[23] Ow'omuzaana yazaalibwa mu ngeri ya bulijjo. Kyokka ye ow'ow'eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza kwa Katonda.
[24] Ebyo biri nga lugero: abakazi abo ababiri z'Endagaano bbiri. Emu yakolerwa ku lusozi Sinaayi, ye azaala abaana ab'omuddu. Endagaano eyo ye Hagari.
[25] Hagari oyo lwe Lusozi Sinaayi, oluli mu Buwarabu; afaanaanyirizibwa ne Yerusaalemu ekiriwo kaakano, kubanga kyo n'abantu baakyo bali mu buddu.
[26] Naye Yerusaalemu eky'omu ggulu kya ddembe, era kyo ye nnyaffe.
[27] Kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omugumba atazaala: leekaana nnyo ggwe atalumwanga kuzaala, kubanga omukazi eyalekebwawo, alina abaana bangi okusinga oyo ali ne bba.”
[28] Kale mmwe, abooluganda, muli baana abaazaalibwa olw'okusuubiza kwa Katonda, nga Yisaaka bwe yali.
[29] Era okufaanana nga bwe kyali mu kiseera kiri, oyo eyazaalibwa mu ngeri eyaabulijjo, bwe yayigganya eyazaalibwa olwa Mwoyo wa Katonda, ne kaakano bwe kiri.
[30] Naye ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Goba omuzaana n'omwana we, kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'ow'ow'eddembe.”
[31] Kale, abooluganda, ffe tetuli baana ba muzaana, wabula ba wa ddembe.