Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:45

[1] Olw'ensonga eyo, nze Pawulo omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga amalala, mbasabira eri Katonda.

[2] Ndowooza mwawulira nga Katonda yankwasa omulimu ogw'okubategeeza mmwe ebifa ku kisa kye,

[3] era nga yandaga ekyama kye, nga bwe nawandiika mu bimpimpi.

[4] Bwe munaasoma bye nawandiika, munaamanya nga bwe ntegeera ekyama kya Kristo.

[5] Mu mirembe egy'edda, abantu tebaategeezebwa kyama kino, naye kaakano Katonda akibikkulidde abatume be abatukuvu n'abalanzi, ng'ayita mu Mwoyo Mutuukirivu.

[6] Ekyama kye kino nti olw'Amawulire Amalungi, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala balina ebisaanyizo bye bimu. Bonna bye bitundu eby'omubiri ogumu, era bagabanira wamu ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu Kristo Yesu.

[7] Katonda olw'ekisa kye, yampa ekirabo, amaanyi ge ne gakola mu nze, n'anfuula omuweereza w'Amawulire Amalungi.

[8] Nze asembayo mu bantu ba Katonda bonna, Katonda yampa omukisa guno okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi ag'obugagga bwa Kristo obutaggwaawo.

[9] Era yampa omukisa okumanyisa abantu bonna ebifa ku kyama kino, Katonda eyatonda byonna kye yali akisizza okuva edda n'edda lyonna.

[10] Kaakano ng'ayita mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ayagala amanyise abafuzi n'ab'obuyinza abali mu ggulu, amagezi ge agatakoma.

[11] Ekyo yakiteekateeka okuva edda n'edda lyonna, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe.

[12] Olw'okwegatta awamu ne Kristo oyo, era n'olw'okumukkiriza, tuguma ne tusembera eri Katonda nga tetutya.

[13] Kyenva mbeegayirira, muleme kuterebuka olw'okulaba nga mbonaabona ku lwammwe, kubanga okubonaabona kwange okwo, mmwe kubaweesa kitiibwa.

[14] Kyenva nfukaamirira Katonda Kitaffe,

[15] ebika byonna eby'omu ggulu n'eby'oku nsi mwe bisibuka,

[16] ne mmusaba ye oweekitiibwa ekingi, abajjuze mmwe amaanyi aga Mwoyo we,

[17] Kristo alyoke abeere mu mitima gyammwe, olw'okukkiriza kwe mulina. Mubeerere ddala mu kwagala, era mukunywereremu,

[18] mmwe awamu n'abantu ba Katonda bonna, musobole okutegeerera ddala obugazi, n'obuwanvu, n'obugulumivu, n'okukka wansi eby'okwagala kwa Kristo.

[19] Nsaba mumanye okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke mujjulire ddala Katonda.

[20] Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, olw'amaanyi ge agakolera mu ffe,

[21] aweebwe ekitiibwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ne mu Kristo Yesu, kaakano ne mu mirembe egitaggwaawo. Amiina.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abeefeso — Chapters