[1] Kale nga bwe muli abaana ba Katonda, mugezengako okumufaanana,
[2] era mwagalanenga, nga Kristo bwe yatwagala, ne yeewaayo eri Katonda ku lwaffe, okuba ekirabo era ekitambiro ekiwunya obulungi.
[3] Muli bantu ba Katonda, n'olwekyo obwenzi n'obugwagwa bwonna, n'okwegomba okubi tebisaana na kwogerebwa mu mmwe.
[4] Era temusaanira kwogera bya nsonyi, wadde eby'obusiru oba okubalaata, wabula mwebazenga Katonda.
[5] Mumanyire ddala kino nti omwenzi, wadde akola eby'ensonyi oba alulunkanira eby'ensi, n'abifuula Katonda we, talina mugabo mu Bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
[6] Walemenga kubaawo ababuzaabuza n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebikolwa ebyo, obusungu bwa Katonda bukola ku bantu abajeemu
[7] N'olwekyo temwegattanga nabo.
[8] Edda mwali ba kizikiza, naye kaakano nga bwe muli aba Mukama, muli ba kitangaala. Kale mutambulenga ng'abantu ab'ekitangaala,
[9] kubanga mu kitangaala mwe muva obulungi bwonna obutuufu n'amazima.
[10] Mufubenga okumanya ekisanyusa Mukama.
[11] Temwegattanga n'abo abakolera mu kizikiza ebyo ebitalina mugaso, wabula mubyatuukirizenga bwatuukiriza,
[12] kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.
[13] Byonna bwe bimala okwatuukirizibwa mu kitangaala, birabikira ddala nga bwe biri,
[14] kubanga ekyo ekiragibwa, kirabibwa. Kyebava bagamba nti: “Zuukuka ggwe eyeebase, ozuukire, Kristo akwakire.”
[15] Kale mubenga beegendereza mu bulamu bwammwe, muleme kuba ng'abatalina magezi, wabula mube ba magezi.
[16] Muleme kwonoona biseera, kubanga ennaku zino mbi.
[17] N'olwekyo temuba balagajjavu, wabula mutegeere Mukama ky'ayagala.
[18] Era muleme kutamiira mwenge, kubanga mujja kweyonoona, wabula mujjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.
[19] Munyumizaganyenga mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya. Muyimbire Mukama, nga musaakaanya amaloboozi n'omutima gwammwe gwonna.
[20] Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, nga muyita mu Mukama waffe Yesu Kristo.
[21] Muwuliraganenga olw'okussaamu Kristo ekitiibwa.
[22] Abakazi muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama,
[23] kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi, nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekibiina ky'abamukkiriza, gwe mubiri gwe, era ye yennyini ye mulokozi waagwo.
[24] Nga ekibiina ky'abakkiriza Kristo bwe kiwulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bwe basaana okuwulira babbaabwe mu byonna.
[25] Mmwe abasajja mwagalenga bakazi bammwe, nga Kristo bwe yayagala ekibiina ky'abamukkiriza, ne yeewaayo ku lwakyo,
[26] akitukuze, ng'akinaaza n'amazzi n'ekigambo,
[27] alyoke yeefunire ekibiina ky'abamukkiriza ekyekitiibwa, nga tekiriiko bbala na kamogo, wadde ekintu ekirala ekiri ng'ebyo.
[28] N'abasajja bwe batyo bwe basaana okwagala bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini.
[29] Tewali n'omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa, agujjanjaba, nga Kristo bw'ajjanjaba ekibiina ky'abamukkiriza,
[30] kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
[31] N'ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n'anywerera ku mukazi we, bombi ne baba omuntu omu.”
[32] Ekyama kino kikulu, era nze ŋŋamba nti kyogera ku Kristo n'ekibiina ky'abamukkiriza.
[33] Naye era nammwe, buli musajja ayagalenga mukazi we, nga bwe yeeyagala yennyini, era n'omukazi assengamu bba ekitiibwa.