Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:34

[1] Abaana, bazadde bammwe mubawulirenga mu Mukama, kubanga ekyo kye kituufu.

[2] “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” kye kiragiro ekisooka, ekirimu okusuubiza nti:

[3] “lw'onoobanga obulungi, era n'owangaala ku nsi.”

[4] Mmwe abazadde b'abaana muleme kunyiizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula, era nga mubayigiriza ebya Mukama.

[5] Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubawulirenga nga temuliimu bukuusa, nga bwe muwulira Kristo.

[6] Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula ekyo Katonda ky'ayagala, mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abaddu ba Kristo.

[7] Muweerezenga n'omutima omulungi ng'abakolera Mukama, sso si ng'abakolera abantu.

[8] Mumanye nti buli muntu, oba muddu, oba wa ddembe, buli kirungi ky'akola, Mukama ky'alimusasula.

[9] Nammwe bakama b'abaddu muyisenga bwe mutyo abaddu bammwe mu mwoyo gwe gumu,nga temubatiisa. Mumanyi nti Mukama waabwe, era owammwe ali mu ggulu, era ye tasosola mu bantu.

[10] Eky'enkomerero, mube bagumu mu Mukama waffe, munywezebwe obuyinza bw'amaanyi ge.

[11] Mukozesenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okuziyiza enkwe za Sitaani.

[12] Tetulwanyisa bantu buntu, wabula tulwanyisa amagye g'emyoyo emibi egy'omu bbanga, egy'abakungu, egy'ab'obuyinza, n'egy'abafuzi ab'omu nsi eno ey'ekizikiza.

[13] N'olwekyo mukwatenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, musobole okuguma ku lunaku olw'akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli bagumu.

[14] Kale muyimirire nga mwenywezezza, ng'amazima lwe lukoba lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng'okukola ebituufu, kye kyambalo kyammwe eky'ekyuma eky'omu kifuba.

[15] Okwetegeka kwammwe kubabeerere ng'engatto mu bigere byammwe, nga mugenda okulangirira Amawulire Amalungi, agaleeta emirembe.

[16] Okusinga byonna, okukkiriza kubabeerere engabo eneebasobozesanga okuziyiza obusaale bwonna obw'omuliro, obulasibwa Omubi.

[17] Era mwetikkire obulokozi nga ye nkuufiira yammwe eŋŋumu, mukwate n'ekitala eky'omwoyo, kye kigambo kya Katonda.

[18] Bulijjo musabenga Katonda, nga mumwegayirira abayambe. Mumusabenga nga Mwoyo bw'anaabaluŋŋamyanga. Ekyo mukikolenga nga temuterebuka, musabirenga abantu ba Katonda bonna.

[19] Nange munsabire, bwe nnaabanga njogera, mpeebwe eby'okwogera, era mbyogere n'obuvumu, nga mmanyisa abantu ekyama ky'Amawulire Amalungi.

[20] Ndi mubaka w'Amawulire ago Amalungi newaakubadde nga ndi mu kkomera. Munsabire mbe n'obuvumu mu kugamanyisa abantu nga bwe kinsaanira.

[21] Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa owa Mukama, alibategeeza byonna, mulyoke mumanye ebinfaako ne bye nkola.

[22] Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye bwe tuli, era abagumye emitima.

[23] Emirembe n'okwagala, awamu n'okukkiriza, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo, bibeerenga n'abooluganda bonna.

[24] Katonda akwatirwenga ekisa abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo, emirembe n'emirembe.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abeefeso — Chapters