Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:09

[1] Nze eyasibibwa olwa Mukama, kyenva mbeegayirira mmwe, mube n'empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa.

[2] Mube bakkakkamu, bawombeefu era bagumiikiriza. Mulage okwagalana kwammwe, nga buli omu agumiikiriza munne.

[3] Mwoyo Mutuukirivu yabafuula omu. Mufube okunywerera mu mirembe egibagatta awamu.

[4] Omubiri guli gumu, ne Mwoyo omu, ng'ekyo kye mwayitirwa era kye musuubira bwe kiri ekimu.

[5] Mukama ali omu, n'okukkiriza kumu, n'okubatizibwa kumu,

[6] Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna, era abeera mu byonna.

[7] Kyokka buli omu mu ffe yaweebwa ekirabo ekyenjawulo, nga Kristo bwe yamugerera.

[8] Ekyawandiikibwa kyekiva kigamba nti: “Bwe yalinnya mu ggulu, yatwala abasibe, n'awa abantu ebirabo.”

[9] Okugamba nti yalinnya, kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w'ensi.

[10] Oyo eyakka, ye wuuyo eyalinnya ewala ennyo, n'ayisa eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna.

[11] Era ye omu oyo eyawa abamu okuba abatume, abalala okuba abalanzi, abalala okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, abalala okuba abasumba b'emyoyo, n'abalala okuba abayigiriza.

[12] Ekyo yakikola olw'okutendeka abantu ba Katonda mu mulimu gw'okuweereza, era n'okuzimba omubiri gwa Kristo,

[13] okutuusa ffenna lwe tulibeera n'okukkiriza okumu, n'okumanya Omwana wa Katonda, tube bakulu mu by'omwoyo, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo.

[14] Olwo nga tetukyali baana bato, abazzibwa eno n'eri, abatwalibwa mu muyaga gw'enjigiriza y'abantu abakuusa, abakyamya abalala olw'enkwe ze basala.

[15] Naye tube ba mazima era abaagalana, tulyoke tukule mu byonna okutuuka ku kwegattira ddala ne Kristo, omutwe gwaffe.

[16] Kristo oyo ye aleetera omubiri gwonna okwegatta awamu, ennyingo ezigulimu zonna ne zinywezebwa, buli kitundu ne kikola omulimu gwakyo. Olwo omubiri ne gukula, ne guzimbibwa mu kwagalana.

[17] Kale kye ŋŋamba, era kye ntegeeza mu linnya lya Mukama kye kino, nti mulekere awo okuyisa ng'abantu ab'ensi bwe bayisa, nga bagoberera ebirowoozo byabwe ebitaliimu.

[18] Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by'obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya, era emitima gyabwe mikakanyavu.

[19] Tebakyalina nsonyi. Beemalidde mu bya buwemu, era balina omululu ogw'okukola eby'obugwenyufu ebya buli ngeri.

[20] Kyokka mmwe, Kristo temwamuyiga bwe mutyo.

[21] Ddala mwawulirako, era mmwe ng'ababe, mwayigirizibwa amazima agali mu Yesu.

[22] Kale muleme kuba bantu ab'embeera ey'edda gye mwalimu, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba.

[23] Mufuuke baggya mu mwoyo ne mu birowoozo byammwe.

[24] Mube bantu baggya, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu bwesimbu ne mu butukuvu obw'amazima.

[25] N'olwekyo, muleke obulimba. Buli muntu ategeezenga munne amazima, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.

[26] Bwe wabaawo ekibasunguwaza, mwekuume kireme kubakozesa kibi. Temuzibyanga budde nga mukyasibye obusungu,

[27] era temwereeterezanga Sitaani.

[28] Abadde abba, alekere awo okubba, wabula anyiikire okukola emirimu, ng'akozesa emikono gye, alyoke abe ne ky'awa abo abeetaaga.

[29] Akamwa kammwe kalemenga okwogera ekigambo ekibi ekitasaana, wabula koogerenga ebyo byokka ebirungi ebizimba era ebisaana, biryoke bigase abo ababiwulira.

[30] Era temunakuwazanga Mwoyo Mutuukirivu wa Katonda, kubanga Mwoyo ke kabonero kwe mulimanyirwa ku lunaku olw'okununulibwa.

[31] Okunyiiga, okusunguwala, okukaayana, okuvuma, na buli bubi bwonna, bibavengamu.

[32] Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mmwe mu Kristo.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Abeefeso — Chapters