Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:38

[1] Baganda bange, mmwe abakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo oweekitiibwa, temusosolanga mu bantu.

[2] Omuntu ayambadde engoye ennungi, n'empeta eya zaabu, bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe, n'omwavu ayambadde enziina naye n'ayingira,

[3] ne mwaniriza ayambadde engoye ennungi, ne mumugamba nti: “Ggwe tuula wano awalungi”, ate ne mugamba omwavu nti: “Ggwe yimirira eri”, oba nti: “Tuula wansi, we nteeka ebigere byange”,

[4] muba temwefudde balamuzi abalina endowooza embi?

[5] Muwulire baganda bange abaagalwa! Abaavu mu nsi, Katonda si be yalonda okuba abagagga mu kukkiriza, n'okufuna Obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala?

[6] Naye mmwe munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza mmwe, ne babasikaasikanya okubatwala mu mbuga z'amateeka?

[7] Si be bo abavvoola erinnya eddungi lye muyitibwa?

[8] Naye bwe mutuukiriza etteeka erisingira ddala amateeka gonna, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini,” muba mukoze bulungi.

[9] Naye bwe musosola mu bantu, muba mukoze bubi, era etteeka libasingisa omusango ogw'abamenyi b'amateeka.

[10] Buli akwata amateeka gonna, kyokka n'asobya mu limu, aba n'omusango ogw'okumenya amateeka gonna,

[11] kubanga eyagamba nti: “Toyendanga”, era ye yagamba nti: “Tottanga muntu”. Kale bw'otoyenda, naye n'otta omuntu, oba mumenyi wa mateeka.

[12] N'olwekyo mwogerenga era mukolenga ng'ab'okusalirwa omusango, ng'amateeka agatufuula ab'eddembe bwe gali.

[13] Atalina kisa, alisalirwa omusango eri Katonda awatali kisa. Naye ekisa kiwonya omuntu okusingibwa omusango.

[14] Baganda bange, kigasa ki omuntu bw'agamba nti alina okukkiriza, sso nga talina bikolwa birungi? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?

[15] Bwe wabaawo owooluganda omusajja oba omukazi atalina ky'ayambala, era atalina kyakulya kimumala buli lunaku,

[16] omu ku mmwe n'amugamba nti: “Genda mirembe, obugume era okkute,” kyokka nga tamuwadde bye yeetaaga, ekyo kigasa ki?

[17] N'okukkiriza bwe kutyo: bwe kuba kwokka, nga tekuliiko bikolwa birungi, kuba kufu.

[18] Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa ebirungi.” Ndaga omuntu bw'aba n'okukkiriza, nga talina bikolwa birungi, nange nkulage okukkiriza kwange, nga nsinziira ku bikolwa byange ebirungi.

[19] Okkiriza nga Katonda ali omu? Kirungi. Naye n'emyoyo emibi gikikkiriza, era ne gikankana olw'okutya.

[20] Musirusiru ggwe, oyagala okumanya nti okukkiriza okutalina bikolwa birungi tekuliiko kye kugasa?

[21] Jjajjaffe Aburahamu, teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye, bwe yawaayo omwana we Yisaaka ku kyoto okumwokya?

[22] Olaba nti okukkiriza kwe, kwagendera wamu n'ebikolwa bye, okukkiriza ne kutuukirira olw'ebikolwa.

[23] Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, era olw'okukkiriza kwe, Katonda n'amukakasa okuba omutuukirivu, era n'amuyita mukwano gwe.”

[24] Mulaba nti omuntu asiimibwa Katonda lwa bikolwa birungi by'akola, sso si lwa kukkiriza kwokka.

[25] Ne ku Rahabu malaaya si bwe kyali? Teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye ebirungi, kubanga yayaniriza ababaka, n'abayamba okudduka ng'abayisa mu kkubo eddala?

[26] Kale nno ng'omubiri ogutaliimu mwoyo bwe guba omufu, n'okukkiriza bwe kutyo: bwe kutabaamu bikolwa birungi, kuba kufu.

Ebbaluwa Eyawandiikibwa Yakobo — Chapters