[1] Baganda bange, bangi mu mmwe muleme kuba bayigiriza, kubanga mumanyi nti ffe abayigiriza tulisalirwa omusango n'obukambwe okusinga abalala.
[2] Ffenna emirundi mingi tusobya. Naye oba nga waliwo omuntu atasobya mu by'ayogera, oyo aba atuukiridde, era asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
[3] Tuteeka ebyuma mu kamwa k'embalaasi, ziryoke zituwulire, ne tuzitwala gye twagala.
[4] N'amaato nago, newaakubadde manene, enkasi entono ennyo ye egagoba ne gagenda yonna yonna omugoba gy'aba ayagala.
[5] N'olulimi nalwo bwe lutyo: newaakubadde katundu katono ak'omubiri, naye luyinza okwenyumiririza mu bingi. Lowooza ku kibira ekinene bwe kiyinza okwokebwa akaliro akatono.
[6] N'olulimi muliro. Lujjudde obubi. Kitundu kya mubiri gwaffe, naye lwonoona omubiri gwonna. Luteekera ebitonde byonna omuliro, nga luguggya mu muliro ogutazikira.
[7] Ebika by'ensolo n'eby'ennyonyi, n'eby'ebyewalula, n'eby'ebiramu eby'omu nnyanja, bifugika, era byafugibwa dda abantu.
[8] Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga. Olulimi kye kintu ekibi, ekitafugika, ekijjudde obutwa kattira.
[9] Lwe tutenderezesa Mukama era Kitaffe, era lwe tukolimiza abantu, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
[10] Mu kamwa ke kamu, mwe muva okutendereza era n'okukolima. Baganda bange, ekyo tekigwanira kuba bwe kityo.
[11] Ensulo y'amazzi emu eyinza okuvaamu amazzi agawooma n'agakaawa?
[12] Baganda bange, omutiini guyinza okubala emizayiti, oba omuzabbibu okubala emitiini? Era bwe kityo n'amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
[13] Mu mmwe mulimu alina amagezi n'okutegeera? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi, mu bikolwa bye ebirungi by'akola n'obwetoowaze era n'amagezi.
[14] Naye mu mitima gyammwe bwe muba n'obuggya obw'akabi era n'okwefaako mwekka, mulemenga kwewaana n'okulimba nga muwakanya amazima.
[15] Amagezi ag'engeri eyo tegava mu ggulu, wabula ga ku nsi, ga bantu buntu, era ga Sitaani.
[16] Awaba obuggya n'abantu okwefaako bokka, wabaawo kutabuka era n'ebikolwa ebibi ebya buli ngeri.
[17] Naye amagezi agava mu ggulu, okusookera ddala malongoofu, ate ga mirembe, mawombeefu, gawuliriza ensonga, gajjudde ekisa era n'ebikolwa ebirungi; meesimbu, tegaliimu bukuusa.
[18] Obwenkanya kye kibala ekiva mu nsigo abaleesi b'emirembe gye basiga, nga bakolerera emirembe.