Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:50

[1] Kaakano ate mmwe abagagga, mukaabe era mulire olw'obuyinike obujja okubajjira.

[2] Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.

[3] Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge obwo bwe bulibalumiriza, ne bulya emibiri gyammwe, ng'omuliro bwe gulya. Mukuŋŋaanyizza obugagga, ng'enkomerero y'ensi eri kumpi okutuuka.

[4] Empeera y'abakozi abaakola mu nnimiro zammwe, gye mwalyazaamaanya, yiino ereekaana, era omulanga gw'abo abaakola, gutuuse mu matu ga Mukama Omuyinzawaabyonna.

[5] Mwesanyusizza ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu. Mugejjedde olunaku olw'okuttibwa.

[6] Mwasala omusango okusinga oyo atagulina, ne mumutta nga tabalwanyisa.

[7] Kale nno baganda bange, mugumiikirizenga okutuusa Mukama lw'alijja. N'omulimi bw'atyo bw'akola: alindirira ennimiro ye okumubalira ebibala eby'omugaso, ng'agumiikiriza okutuusa lw'alifuna enkuba esooka era n'eyo ejja oluvannyuma.

[8] Nammwe mugumiikirizenga, mugume emitima, kubanga Mukama ali kumpi okujja.

[9] Baganda bange, temwemulugunyizagananga, muleme okusalirwa omusango. Omulamuzi ali awo kumpi.

[10] Baganda bange, mulabire ku balanzi abaayogeranga mu linnya lya Mukama, abaabonaabona, ne bagumiikiriza.

[11] Abo abaagumiikiriza, tubayita ba mukisa. Mwawulira Yobu bwe yagumiikiriza, era mumanyi Mukama kye yamukolera oluvannyuma, kubanga Mukama wa kisa era musaasizi.

[12] Naye baganda bange, okusingira ddala, temulayiranga newaakubadde eggulu oba ensi, wadde ekintu ekirala kyonna, naye mugambenga nti: “Weewaawo”, nga mutegeeza nti weewaawo; oba nti “Nedda”, nga mutegeeza nti nedda, muleme kuzza musango.

[13] Waliwo mu mmwe ali mu buyinike? Kale yeegayirire Katonda. Waliwo asanyuka? Kale ayimbe eby'okutendereza Katonda.

[14] Mu mmwe waliwo alwadde? Kale ayite abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, bamusabire nga bwe bamusiiga n'omuzigo mu linnya lya Mukama.

[15] Okusaba okwo okujjudde okukkiriza, kuliwonya omulwadde oyo, Mukama n'amussuusa; era oba nga yakola ebibi, birimusonyiyibwa.

[16] Kale nno mwatuliraganenga ebibi byammwe era musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omutuukirivu kwa maanyi era kukola.

[17] Eliya yali muntu nga ffe. Yasaba nnyo Katonda, enkuba ereme kutonnya ku nsi, era n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga.

[18] N'asaba nate, eggulu ne litonnyesa enkuba, ettaka ne lyeza ebibala.

[19] Baganda bange, omu ku mmwe bw'awabanga n'ava ku mazima, omulala n'amukomyawo,

[20] amanye nti oyo akomyawo omwonoonyi n'amuggya gy'awabidde, aliwonya omwoyo gwe okufa, era alisonyiyisa ebibi bingi.

Ebbaluwa Eyawandiikibwa Yakobo — Chapters