[1] Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira abalamu n'abafu omusango, era nkukuutira olw'okujja kwe, n'olw'Obwakabaka bwe,
[2] tegeezanga abantu ekigambo kya Katonda, ng'onyiikira okuyigirizanga mu biseera ebirungi n'ebitali birungi. Nenyanga, kangavvulanga, era buuliriranga abantu, ng'oli mugumiikiriza.
[3] Ekiseera kijja, abantu lwe baligaana okuwulira enjigiriza ey'amazima, era olw'okugoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, ababayigiriza ebyo bye baagala.
[4] Baligaana okuwuliriza eby'amazima, ne bagoberera enfumo obufumo.
[5] Naye ggwe beeranga mwetegefu bulijjo, gumiranga okubonyaabonyezebwa, okolenga omulimu ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, otuukirize omulimu gwe waweebwa.
[6] Nze ndi kumpi okutambirwa. Ekiseera kyange eky'okuva ku nsi kituuse.
[7] Nnwanye bulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.
[8] Kye nsigazza kwe kufuna engule ey'obutuukirivu, Mukama omulamuzi omwenkanya gy'alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n'abo bonna, abeegomba okujja kwe.
[9] Fuba okujja amangu gye ndi,
[10] kubanga Dema yandekawo ng'ayagala eby'oku nsi kuno, n'agenda e Tessalonika. Kuresike yagenda Galatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya.
[11] Lukka yekka ye ali nange. Ggyayo Mariko omuleete, kubanga annyamba nnyo ku mulimu.
[12] Tukiko namutuma mu Efeso.
[13] Bw'obanga ojja, ondeeteranga ekkooti yange gye naleka e Turoowa ewa Karipo. Ondeeteranga n'ebitabo, naddala ebyo eby'amaliba.
[14] Alekizanda omuweesi w'ebikomo yankola bubi nnyo. Mukama alimusasula olw'ebyo bye yakola.
[15] Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe.
[16] Mu kuwoza kwange okwasooka, tewali n'omu yannyamba, bonna banjabulira. Nsaba Katonda, ekyo kireme kubavunaanibwa.
[17] Naye Mukama yabeera nange, n'ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala ab'amawanga amalala bonna ekigambo kya Katonda, ne bakiwulira, bw'atyo n'anzigya mu kamwa k'empologoma.
[18] Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu Bwakabaka bwe obw'omu ggulu. Mukama oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
[19] Lamusa Priska ne Akwila, n'ab'omu maka ga Onesiforo.
[20] Erasto yasigala mu Korinto, ate Turofimo namuleka mu Mileeto nga mulwadde.
[21] Fuba nnyo ojje ng'ekiseera eky'obutiti tekinnatuuka. Ewubulo ne Pudente ne Liino ne Kulawudiyo, awamu n'abooluganda bonna bakulamusizza.
[22] Mukama abeere naawe, era akukwatirwe ekisa.