Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:44

[1] Nze Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo. Natumibwa nnyongere mu balondemu ba Katonda okukkiriza, era mbamanyise amazima g'eddiini yaffe,

[2] ageesigamye ku kusuubira obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yatusuubiza okuva edda n'edda lyonna.

[3] Ekiseera bwe kyatuuka, obulamu obwo n'abulagira mu bigambo, bye yankwasa mbitegeeze abantu, nga Katonda Omulokozi waffe bwe yalagira.

[4] Nkuwandiikira ggwe Tito omwana wange ddala, mu kukkiriza kwaffe ffenna. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, era bakuwe emirembe.

[5] Nakuleka mu Kureete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereezebwa, era oteekewo abakulembeze b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.

[6] Oyo gw'olonda, asaanye okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, era ng'alina omukazi omu. Abaana be bateekwa okuba nga bakkiriza, era nga tebabalirwa mu balalulalu, wadde mu batali bawulize,

[7] kubanga omulabirizi nga bw'ali omuweereza wa Katonda, ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu, nga teyeekulumbaza, nga tasunguwala mangu, nga tatamiira, nga si mukambwe, era nga talulunkanira byakufuna.

[8] Wabula ateekwa okuba ng'amanyi okwaniriza abagenyi, era ng'ayagala obulungi, nga mwegendereza, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng'amanyi okwefuga.

[9] Ateekwa okuba omuntu anywerera ku bigambo eby'amazima, nga bwe yabiyigirizibwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, era n'okulaga obukyamu bw'abo abagiwakanya.

[10] Waliwo bangi abajeemu, naddala abamu ku bakomole, aboogera ebitaliimu era abalimba.

[11] Abo basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitasaana, balyoke beefunire amagoba amabi.

[12] Omu mu bo, era omulanzi yagamba nti: “Ab'e Kureete bulijjo balimba; zensolo embi, ze mbuto engayaavu!”

[13] Kye yagamba kya mazima. N'olwekyo, oteekwa okubanenyanga n'amaanyi, balyoke babe n'okukkiriza okutuufu.

[14] Balemenga okussa omutima ku nfumo ez'obulimba ez'Ekiyudaaya, wadde ku biragiro, abantu abagaana amazima bye bagunja.

[15] Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu. Naye eri abo abatali balongoofu n'abatakkiriza, tewaba kirongoofu, kubanga amagezi gaabwe n'ebirowoozo byabwe byayonooneka.

[16] Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu; tebasaanira mulimu mulungi na gumu.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Tito — Chapters