Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:20

[1] Kale mwana wange, nywera ng'oyambibwa amaanyi Kristo Yesu g'atuwa.

[2] Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g'abajulirwa abangi, biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.

[3] Naawe bonaabona ng'omuserikale omulungi owa Kristo Yesu.

[4] Tewali muserikale ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana egy'abantu abaabulijjo, kubanga ekiba kimuli ku mutima, kwe kusanyusa oyo eyamuwandiika okuba omuserikale.

[5] Oyo eyeetaba mu mizannyo gy'empaka, taweebwa ngule ya buwanguzi bw'atagoberera biragiro.

[6] Omulimi eyategana asaanira okusooka okufuna ku bibala.

[7] Lowooza ku kye ŋŋamba, Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.

[8] Jjukira nti Yesu Kristo, omuzzukulu wa Dawudi yazuukira, ng'Amawulire Amalungi ge ntegeeza abantu bwe gagamba.

[9] Olw'Amawulire ago Amalungi kyenva mbonaabona, ne nsibibwa ng'omukozi w'ebibi. Naye ekigambo kya Katonda tekisibiddwa.

[10] Kyenva ŋŋumira byonna olw'abalondemu ba Katonda, balyoke bafune okulokolebwa, n'ekitiibwa ekitaggwaawo, ebiri mu Yesu Kristo.

[11] Ekigambo kino kya mazima ekigamba nti: “Oba nga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye.

[12] Bwe tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Bwe tumwegaana, era naye alitwegaana.

[13] Bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga tayinza kwewakanya.”

[14] Ebyo obijjukizenga abantu bo ng'obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutaliimu mugaso, okwonoona abo abawuliriza.

[15] Fubanga okusiimibwa Katonda, ng'oli mukozi akola ebitakuswaza, era yigirizanga bulungi ekigambo eky'amazima.

[16] Weewalenga ebigambo ebitassaamu Katonda kitiibwa, era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi kunyooma Katonda.

[17] Era ebigambo byabwe birirya nga kookolo. Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Fileeto,

[18] abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda. Era waliwo abamu be boonoonedde okukkiriza kwabwe.

[19] Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era guliko akabonero, bye bigambo ebigamba nti: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama, ave mu bibi.”

[20] Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n'eby'emiti, era n'eby'ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egyekitiibwa, n'ebirala egitali gyakitiibwa.

[21] Buli eyeewala ebibi ebyo byonna, ye anaabanga ekintu ekyekitiibwa, ekitukuziddwa, ekisaanira buli mulimu omulungi.

[22] N'olwekyo weewalenga okwegomba okubi okw'ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, okukkiriza, okwagalana era n'emirembe, ng'oli wamu n'abo abeegayirira Mukama.

[23] Weewalenga empaka ez'obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu nnyombo.

[24] Omuweereza wa Mukama tasaana kuyomba, wabula okuba ow'ekisa eri buli muntu, n'okuba omuyigiriza omulungi, agumiikiriza,

[25] era ng'aluŋŋamya n'obwetoowaze abo abamuwakanya, osanga Katonda abawa okwenenya, ne bamanya amazima,

[26] ne bava mu mutego gwa Sitaani gw'abakwasisizza, abakozese by'ayagala.

Ebbaluwa Eyookubiri Pawulo Gye Yawandiikira Timoteewo — Chapters