Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:29

[1] Kale manya kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiseera eby'akabi,

[2] kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ebyokufuna, nga beenyumiriza, nga beepanka, nga bavvoola, era nga tebawulira babazaala. Baliba tebeebaza, nga tebafa ku bya Katonda,

[3] nga tebaagalana, era nga tebatabagana; nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi.

[4] Baliba nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala amasanyu okusinga bwe baagala Katonda;

[5] nga kungulu balabika ng'abassaamu eddiini ekitiibwa, sso nga tebakkiriza maanyi gaayo. Abantu abo beewalenga.

[6] Mu abo mulimu abasensera mu mayumba, ne bawamba abakazi abasirusiru, abajjudde ebibi, era abatwalibwa okwegomba okubi okwa buli ngeri,

[7] abayiga bulijjo, naye ne batayinziza ddala kutegeera mazima.

[8] Bali nga Yene ne Yambure abaawakanya Musa. Ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka amagezi, abatakyalina kukkiriza kutuufu.

[9] Naye tebalina gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng'obwa Yane ne Yambure bwe bwamanyibwa.

[10] Naye ggwe wagoberera okuyigiriza kwange, n'empisa zange, ne kye nduubirira. Era wagoberera okukkiriza kwange, n'okwagala kwange. Era omanyi nga bwe nagumira

[11] okuyigganyizibwa n'okubonyaabonyezebwa, ebyantuukako mu Antiyookiya, mu Yikoniyo ne mu Lisitura. Ddala nayigganyizibwa nnyo! Kyokka Mukama yamponya mu byonna.

[12] Era bonna abaagala okuba mu bulamu obussaamu Katonda ekitiibwa nga bali mu Kristo Yesu, ba kuyigganyizibwanga.

[13] Naye abantu ababi, n'abalimba balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babuzibwabuzibwa.

[14] Naye ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n'obikkiririza ddala, ng'omanyi abaabikuyigiriza.

[15] Okuva mu buto bwo, wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza, n'olokolebwa olw'okukkiriza Kristo Yesu.

[16] Ebyawandiikibwa byonna Ebitukuvu, Katonda ye yabiruŋŋamya, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya, ne mu kugunjula omuntu akolenga ebituufu,

[17] omuntu wa Katonda alyoke abe ng'atuukiridde, ng'alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Ebbaluwa Eyookubiri Pawulo Gye Yawandiikira Timoteewo — Chapters