Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:20

[1] Jjukizanga abantu bo beegenderezenga abafuzi n'ab'obuyinza, babawulirenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi.

[2] Bakuutire balemenga kwogera bubi ku muntu n'omu, era beewalenga okuyomba; babenga bakkakkamu, era bassengamu abantu bonna ekitiibwa,

[3] kubanga naffe ffennyini edda twali basirusiru era bajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n'amasanyu aga buli ngeri. Twali ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa, era nga tukyawagana.

[4] Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe, n'okwagala kwe, kw'ayagalamu abantu bwe byalabika,

[5] n'atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola, wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng'atunaaza, ne tuzaalibwa omulundi ogwokubiri, ne tufuuka abaggya olwa Mwoyo Mutuukirivu,

[6] gwe yatubunduggulako ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe.

[7] Ekyo yakikola tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tuweebwe obulamu obutaggwaawo, bwe tusuubira.

[8] Ekyo kya mazima. Era ebyo njagala obikakasizenga ddala, abakkiriza Katonda balyoke beemalirenga ku kukola ebikolwa ebirungi. Ebyo birungi era bigasa abantu.

[9] Naye weewalenga empaka ez'obusiru, n'okukaayana ku nkalala z'amannya g'abajjajja b'abantu. Era weewalenga okuwakanira ebikwata ku Mateeka. Kubanga ebyo tebiriiko kye bigasa, era bya bwereere.

[10] Oyo aleetera abantu obutassa kimu, bw'omalanga okumulabula omulundi ogusooka era n'ogwokubiri, ng'omuleka,

[11] kubanga omanyi nti omuntu ng'oyo aba mukyamu, era mwonoonyi, era aba yeesalidde yekka omusango okumusinga.

[12] Bwe ndikutumira Aritema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga eyo gye mmaliridde okubeera mu biseera eby'obutiti.

[13] Fuba nga bw'osobola okutegekera Zeena munnamateeka ne Apollo olugendo lwabwe, era olabe nti balina buli kimu kye beetaaga.

[14] Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.

[15] Bonna abali nange bakulamusizza. Lamusa abatwagala, bwe tulina okukkiriza okumu. Katonda akukwatirwenga ekisa.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Tito — Chapters