Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:06

[1] Naye ggwe yigirizanga ebyo ebitabagana n'enjigiriza entuufu.

[2] Kubirizanga abasajja abakulu babenga bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abatuukiridde mu kukkiriza, mu kwagala, ne mu kugumiikiriza.

[3] Abakazi abakulu nabo bakubirizenga bw'otyo, babenga n'empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira. Bateekwa okuyigirizanga ebirungi,

[4] balyoke bagunjule abakazi abato okwagalanga babbaabwe n'abaana baabwe.

[5] Era babenga beegendereza, abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe; ab'ekisa era abawulize eri babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga kuvvoolebwa.

[6] N'abavubuka bakubirizenga babenga beegendereza.

[7] Era ggwe oteekwa okuba ekyokulabirako ekirungi mu byonna by'okola, ng'oli mwesimbu era ow'amazima mu kuyigiriza kwo.

[8] Buli ky'oyogera kiteekwa okuba ekituufu, era nga tekiriiko kye kinenyezebwamu, oyo akiwakanya alyoke aswale, olw'obutaba na kibi ky'atwogerako.

[9] Kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe, era babasanyusenga mu byonna, nga tebabawakanya,

[10] wadde okubabbako ebyabwe. Naye balagenga obwesigwa obw'amazima mu byonna, abantu balyoke basiime enjigiriza ya Katonda Omulokozi waffe.

[11] Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna okulokolebwa kirabise.

[12] Era kituyigiriza okulekayo obutassaamu Katonda kitiibwa, n'okulekayo okwegomba kw'ensi, tulyoke tube bateefu, abeesimbu, era abassaamu Katonda ekitiibwa nga tuli ku nsi kuno,

[13] era tube nga tulindirira olunaku olw'omukisa lwe tusuubira, era nga tulindirira okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

[14] Kristo oyo yeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bibi byaffe byonna, atufuule abantu be abalongoofu, abanyiikirira okukola ebirungi.

[15] Ebyo by'obanga oyogera ng'obuulirira, era ng'onenya abantu bo n'obuyinza bwonna. Tewabangawo akunyooma.

Ebbaluwa Pawulo Gye Yawandiikira Tito — Chapters