[1] Baganda bange, tetwetaaga kubawandiikira bifa ku budde n'ebiseera, ebyo we biribeererawo.
[2] Nammwe mwennyini mumanyidde ddala nti olunaku lwa Mukama lujja ng'omubbi bw'ajja ekiro.
[3] Abantu bwe baliba nga bagamba nti: “Mirembe, tewali kabi”, olwo okuzikirizibwa ne kulyoka kubatuukako, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi alumwa okuzaala. Tebaliwona n'akatono.
[4] Naye mmwe, baganda bange, temuli mu kizikiza nti olunaku olwo lulibagwikiriza ng'omubbi,
[5] kubanga mwenna muli bantu ba kitangaala, era muli ba misana. Tetuli ba kiro, wadde ab'ekizikiza.
[6] Kale tuleme kwebaka ng'abalala, naye tutunule, tuleme kuba batamiivu.
[7] Abeebaka, beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro.
[8] Kale nga bwe tuli ab'emisana, tuleme kuba batamiivu. Okukkiriza n'okwagalana bitubeerere engabo, n'okusuubira obulokozi kutubeerere enkuufiira,
[9] kubanga Katonda teyatuteekerateekera kubonerezebwa busungu bwe, wabula yatuteekerateekera kulokolebwa Mukama waffe Yesu Kristo,
[10] eyatufiirira, tulyoke tube balamu wamu naye, si nsonga oba tufudde oba tuli balamu.
[11] Kale buli omu agumyenga munne, era amuyambenga, nga bwe mukola kati.
[12] Abooluganda, tubeegayirira mumanye abo abakola omulimu mu mmwe, era Katonda b'alonze okubakulembera n'okubayigiriza.
[13] Mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubaagalenga olw'omulimu gwabwe. Mubenga n'emirembe mu mmwe.
[14] Abooluganda, tubeegayiridde mulabulenga abagayaavu, mugumyenga abatali banywevu, muyambenga abanafu, mugumiikirizenga bonna.
[15] Mulabe nti mu mmwe tewaba awoolera ggwanga, wabula bulijjo munyiikirirenga okukola ebirungi mu mmwe, ne mu bantu bonna.
[16] Musanyukenga bulijjo.
[17] Musinzenga Katonda buli kiseera.
[18] Mu byonna mwebazenga, kubanga ekyo mmwe ng'abantu ba Kristo, Katonda ky'ayagala mukole.
[19] Temuziyizanga Mwoyo Mutuukirivu.
[20] Temugayanga bya balanzi.
[21] Mwekenneenyenga byonna, mugumirenga ku kirungi,
[22] mwewalenga buli kibi.
[23] Katonda yennyini atuwa emirembe, abatukuze. Era emyoyo gyammwe n'obulamu bwammwe n'emibiri gyammwe, bikuumibwe nga biri bulungi, Mukama waffe Yesu bw'alijja, mube nga temuliiko kye munenyezebwa.
[24] Eyabayita mwesigwa, era ekyo alikituukiriza.
[25] Baganda bange, mutusabire.
[26] Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okw'abantu ba Katonda.
[27] Mbalagira, mu linnya lya Mukama waffe, ebbaluwa eno esomerwe abooluganda bonna.
[28] Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.