Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:14

[1] Nze Pawulo, ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ab'omu Tessalonika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo.

[2] Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa era babawe emirembe.

[3] Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe. Ekyo tusaanye okukikola kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, era n'okwagala buli omu mu mmwe kw'ayagalamu banne kweyongera.

[4] Naffe ffennyini kyetuva twenyumiriza ku lwammwe mu bibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo. Twenyumiriza olw'okugumiikiriza n'olw'okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna, ne mu kubonaabona bye mugumira.

[5] Ekyo kiraga nti Katonda mwenkanya mu kulamula kwe, kubanga ku nkomerero mulisaanira Obwakabaka bwa Katonda bwe mubonaabonera.

[6] Katonda mwenkanya, alibonereza abo abababonyaabonya,

[7] ate mmwe ababonyaabonyezebwa n'abawa ekiwummulo awamu naffe. Ebyo biribaawo Mukama waffe Yesu bw'alirabika ng'ava mu ggulu, ng'ali ne bamalayika be ab'amaanyi.

[8] Walibaawo n'omuliro ogwaka, abonereze abo abatamanyi Katonda, n'abo abagaana okukkiriza Amawulire Amalungi aga Mukama waffe Yesu.

[9] Baliweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, ne bagobebwa mu maaso ga Mukama oweekitiibwa ennyo.

[10] Ebyo biribaawo ku lunaku lw'alijjirako okugulumizibwa mu batukuvu be, bonna abakkiriza ne bamulaba mu kitiibwa kye. Nammwe muliba wamu nabo, kubanga mwakkiriza ebyo bye twabategeeza.

[11] Bulijjo kyetuva tubasabira eri Katonda waffe, abasaanyize ekyo kye yabayitira, era mu buyinza bwe, atuukirize ebirungi byonna bye mumaliridde okukola, ne bye mukola olw'okukkiriza.

[12] Olwo Mukama waffe Yesu alyoke aweebwe ekitiibwa mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye. Ekyo kituukirizibwe olw'ekisa kya Katonda waffe, ne Mukama Yesu Kristo.

Ebbaluwa Eyookubiri Pawulo Gye Yawandiikira Abatessalonika — Chapters