[1] Abooluganda, mwatuyigirako nga bwe musaana okubeera, mulyoke musanyuse Katonda, era bwe mutyo bwe mubadde mukola. Kale kaakano eky'enkomerero, tubeegayirira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukole bwe mutyo n'okusingawo,
[2] kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu nga bwe biri.
[3] Katonda ky'abaagaza, kwe kuba abatukuvu, mwewale obwenzi.
[4] Buli omu mu mmwe ateekwa okumanya okufuganga omubiri gwe mu butukuvu, n'okugussangamu ekitiibwa.
[5] Temufugibwanga kwegomba kwa mubiri, ng'abantu ab'ensi abatamanyi Katonda bwe bakola.
[6] Mu nsonga eno waleme kubaawo akola ebirumya munne, wadde okumutwalako ekikye, kubanga Mukama awoolera eggwanga oly'ebyo byonna. Ebyo byonna twabibalabulamu era twabibategeeza dda.
[7] Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula yatuyitira butukuvu.
[8] N'olwekyo buli anyooma ekyo, aba tanyoomye muntu, wabula aba anyoomye Katonda, abawa mmwe Mwoyo Mutuukirivu we.
[9] Naye ebikwata ku kwagalana, abooluganda, seetaaga kubibawandiikira, kubanga mmwe mwennyini Katonda yabayigiriza okwagalana.
[10] Era bwe mutyo bwe mukola mu booluganda bonna abali mu Makedooniya yonna. Kale baganda baffe, tubeegayirira mukolenga bwe mutyo n'okusingawo.
[11] Munyiikirirenga okuba mu ddembe, mukolenga emirimu gyammwe, nga mukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba.
[12] Olwo abatakkiriza banaabassangamu ekitiibwa, era muneemaliriranga mu bye mwetaaga.
[13] Abooluganda, twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa, muleme kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi.
[14] Tukkiriza nti Yesu yafa n'azuukira, era bwe kiriba ne ku abo abaafa nga bakkiriza Yesu: Katonda alibakomyawo wamu ne Yesu.
[15] Tubategeeza ekyo Mukama waffe kye yagamba nti Ye Mukama waffe bw'alijja, ffe abalamu tetulisooka abo abaafa.
[16] Mukama waffe yennyini alikka ng'ava mu ggulu, ekirangiriro nga kirangirirwa, eddoboozi lya Ssaabamalayika nga liwulirwa, era n'ekkondeere lya Katonda nga livuga. Abo abaafa nga bakkiriza Kristo, be balisooka okuzuukira.
[17] Awo naffe abaliba bakyali abalamu, ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Olwo ne tubeeranga ne Mukama waffe bulijjo.
[18] Kale buli omu agumyenga munne n'ebigambo ebyo.