[1] Abooluganda, mmwe mwennyini mumanyi nti okujja kwaffe gye muli, tekwafa bwereere.
[2] Mumanyi nga bwe twabonaabona, era nga bwe twavumirwa e Filippi, nga tetunnajja gye muli e Tessalonika. Naye Katonda waffe yatugumya, ne tubategeeza mmwe Amawulire Amalungi agava gy'ali, newaakubadde bangi baatuziyizanga.
[3] Bye tubakubiriza si bya bulimba oba eby'obugwagwa, wadde eby'obukuusa.
[4] Naye nga Katonda bwe yatwesiga n'atukwasa Amawulire Amalungi, naffe bwe tutyo bwe tugabategeeza, nga tetugenderera kusanyusa bantu, wabula okusanyusa Katonda akebera emitima gyaffe.
[5] Mumanyi bulungi nti tetukozesanga bigambo bya kubawaanawaana, wadde eby'okukweka omululu gwaffe. Katonda ye mujulirwa waffe.
[6] Tetwegombanga kitiibwa, okukiweebwa mmwe oba abalala, newaakubadde nga twandisobodde okukibasaba mmwe, nga bwe tuli abatume ba Kristo.
[7] Naye twegendereza mu mmwe, ng'omuzadde alabirira abaana be.
[8] Twabalumirwa nnyo omwoyo, kyetwava twegomba okubatuusaako Amawulire Amalungi agava eri Katonda. Si ekyo kyokka, naye twegomba n'okuwaayo obulamu bwaffe bwennyini, kubanga twabaagala nnyo.
[9] Abooluganda mujjukire nga bwe twabategeezanga Amawulire Amalungi agava eri Katonda, era nga bwe twafuba ne tutegana, nga tukola emisana n'ekiro, tuleme okuzitoowerera wadde omu ku mmwe.
[10] Mmwe abakkiriza muyinza okutujulira, era ne Katonda atujulira nti empisa zaffe nga tuli mu mmwe zaali ntukuvu, ezituukiridde, era ezitaliiko kya kunenyezebwa.
[11] Mumanyi nti buli omu ku mmwe twabanga naye nga kitaawe w'abaana bw'aba n'abaana be.
[12] Twababuulirira, twabagumya, era twabakubiriza mube mu bulamu obusanyusa Katonda, eyabayita okuba mu Bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye.
[13] Era kyetuva twebaza Katonda bulijjo, kubanga bwe mwawulira ekigambo kye, kye twabategeeza, mwakikkiriza, si nga eky'abantu, wabula mwakkiriza nti ddala kya Katonda. Era ekigambo kye, kye kikolera mu mmwe abakkiriza.
[14] Abooluganda, mufaanana n'ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo Yesu ab'omu Buyudaaya, kubanga mwabonyaabonyezebwa bannansi bannammwe, nga bali bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya,
[15] abatta Mukama waffe Yesu era n'abalanzi, ate naffe ne batuyigganya. Tebasanyusa Katonda, era balabe b'abantu bonna.
[16] Baagezaako n'okutuziyiza okutegeeza ab'amawanga amalala eby'okubalokola, ekyo ne kyongera ku bibi byabwe bye bazze bakola okuva edda. Ku nkomerero Katonda n'abasunguwalira nnyo.
[17] Abooluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono (ku maaso, sso si ku mutima), tweyongera nnyo okwegomba okubalabako,
[18] ne twagala okujja gye muli. Nze Pawulo, nagezaako omulundi ogusooka n'ogwokubiri, kyokka Sitaani n'atuziyiza.
[19] Kale Mukama waffe bw'alijja, si mmwe mulibeera essuubi lyaffe n'essanyu lyaffe mu maaso ge? Si mmwe tulisinziirako okwenyumiriza olw'obuwanguzi?
[20] Mmwe kitiibwa kyaffe, era mmwe ssanyu lyaffe.