Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 1:45

[1] Tubabuulira ku Kigambo ow'obulamu, eyaliwo okuviira ddala olubereberye. Twawulira by'ayogera, twamulaba n'amaaso gaffe, twamutunuulira, era twamukwatako n'engalo zaffe.

[2] Obulamu obwo bwe bwalagibwa, twabulaba. Kale tubwogerako, ne tubategeeza mmwe eby'obulamu obwo obutaggwaawo, obwali awali Kitaffe, era obwatulagibwa.

[3] Kye twalaba, era kye twawulira, kye tubategeeza, nammwe mulyoke mutwegatteko mu kussa ekimu ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo.

[4] Era bino tubiwandiika, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

[5] Bino bye bigambo bye, bye twawulira era bye tubategeeza mmwe nti Katonda kye kitangaala, era mu ye temuli kizikiza n'akatono.

[6] Bwe tugamba nti tussa kimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba, era tuba tetukolera ku mazima.

[7] Naye bwe tutambulira mu kitangaala, nga naye bw'ali mu kitangaala, tussa kimu ffenna, era omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako buli kibi.

[8] Bwe tugamba nti tetulina kibi, tuba twerimba, era amazima nga tegali mu ffe.

[9] Naye bwe twatula ebibi byaffe, Katonda omwesigwa era omutuukirivu abitusonyiwa, era atunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.

[10] Bwe tugamba nti tetukolanga kibi, Katonda tumufuula mulimba, era nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe.

Ebbaluwa Ya Yowanne Embereberye — Chapters